TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abakungu ba Buweekula baddukidde wa Ssekabembe oluvannyuma lw'omuzannyi waabwe okufumuulwa mu Masaza

Abakungu ba Buweekula baddukidde wa Ssekabembe oluvannyuma lw'omuzannyi waabwe okufumuulwa mu Masaza

Added 24th June 2016

Abakungu ba Buweekula baddukidde wa Ssekabembe oluvannyuma lw'omuzannyi waabwe okufumuulwa mu Masaza

SSekabembe

SSekabembe

ABAKUNGU b'essaza lya  Buweekula baddukidde ewa minisita w’eby’emizannnyo e Mmengo nga bajulira ku nsala y’omusango akakiiko akaddukanya empaka z’amasaza gwe  kabasingisizza oluvannyuma lw’okuzannyisa omuzannyi agambibwa obutabeera mumateeka.

Abakungu bano abakulembeddwa ssentebe waabwe Edward Mawanda be bawandiikidde minisita  w’ebyemizannyo ,abavubuka n’okwewummuza Henry Kiberu Ssekabembe ebbaluwa nga bajulira ku ngeri akakiiko k’amasaza gye kakuttemu omusango ogw’a babawaabirwa Busujju  gye buvudeko nga balumiriza omuzannyi Elvis Kiberu okubeera ne layisinsi ez’emirundi ebbiri okuli eya Busiro ne Buweekula.

Kyokka akakiiko kano bwe kaatudde ku Lwokusatu nekawa ensala yaako nga  nti Buweekula yasingiziddwa omusango olw’okuzannyisa Elvis Kiberu omuzannyi eyali ebweru w’amateeka era nebaggyibwako obubonero 3 mu mpaka eza Luwangula n’Amasaza bwe bali bafuna ku Busiro ne Busujju gye buvudeko .

Era n’omuzannyi nawerebwa obutaddamu kwetaba mu mpaka zonna ezitegekebwa akakiiko k’amasaza okumala omwaka mulamba.

Bino olwagudde mu mattu ng’abakungu ba Buwekula  nebaddukira ewa Ssekabembe nga bajjulira ku ngeri omusango ogwo gye gwakwatiddwamu kubanga tebawereedwa mukisa kusooka kwewozaako ng’ate babadde n’ebiwandiiko ebiraga nti omuzannyi ayogerwako yaweebwa ebbaluwa omukiriza okwegatta ku Buwekula(Release letter) gye buvudeko era nga eriko n’emikono gy’ababade  abakungu ba Busiro okuli Alozious Ssengendo(omuwandiisi) ne John Ssebwato  ssentebe wa ttiimu mu biseera omuzannyi oyo we yakirizibwa okwegattira ku ttiimu ya Buwekula gye buvudeko.

Mawanda yategeezeza nti;  “Tusazeewo okuddukira ewa minisita kubanga yalina obuyinza okulagira akakiiko okukyusa byonna ebyavudde mu kakiiko k’amasaza kubanga byabaddemu kyekubiira n’obutawa mukisa kuwuliriza ludda luwawabidwa mu musango gwe kasaze”.

Ye Ssengendo ne Ssebwato abakungu ba Busiro bwe batuukiriddwa bakirizza eky’okuwa omuzannyi Kiberu bbaluwa emukiriza okwegatta ku Buwekula kubanga bali tebalina ntekateeka kumweyambisa olw’abazannyi  abangi be balina mu kadde ako.

Adam Ssematiko akola mu offiisi ya minisita yategeezeza nti bakyalindiride bbaluwa egambibwa okubeera nga yawandikidwa abakungu ba Buwekula basalewo ekinadako ku nsonga eyo.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

Minisitule y'ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n’ab’ebibiina...

Zzimula n'embuzi ze.

EMBUZI GYE BAMPA MU MUSOMO ...

ZZIMULA , mutuuze w’e Busega Kibumbiro zooni B mu munisipaali y'e Lubaga mu Kampala. Muluunzi wa mbuzi era yazizimbira...

Aikoru n'abaana baabadde atulugunya.

Abadde asuza abaana mu kaab...

OMUKAZI Juliet Aikoru ow’e Kazo Angola akwatiddwa ng’abadde amaze ebbanga ng’atulugunya abaana ba muggyawe be yalekera...