
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ekya FIFA kiggye engalo ku kuzimba ekisaawe kya KCCA FC era ne bakwasa bannyinikyo ne FUFA satifikeeti ekkiriza okukisambirako emipiira gyonna eriri ku mutindo gw’ensi yonna.
FIFA yakwasizza FUFA satifikeeti eriko omukono gwa Pulezidenti wa FIFA omuggya Fantino wiiki ewedde ng’eri ku nnamba AG 6271.1 era ng’ekkiriza ekisaawe kino okusambirwako emipiira okutuusa mu 2020.
CEO wa FUFA Watson Edgar agambye nti guno gubadde mukisa era kya kwenyumiririzaamu kubanga amawanganga si mangi agaafuna pulojekiti ya FIFA eno emanyiddwa nga FIFA Challenge Programm eyaweebwa Uganda mu bukulembeze bw’eyali Pulezidenti wa FIFA Sepp Blatter omwaka oguwedde.
FIFA yawaako ddoola z’Amerika 506,000.00 okuzimba ekisaawe kino nga bannyiniko aba KCCA baateekamu obukadde 320,000,000/= nga zaali zakusasula misolo mu URA okuyingiza mu ggwanga ebintu ebyakozesebwa okuzimba ekisaawe.
Kyazimbiddwa kkampuni ya Green Fields okuva e Rwanda.
Kino kye kisaawe ekyokubiri eky’ekiwempe mu Uganda ng’ekyasooka kiri Njeru okumpi n’e Jinja nga we wali ekitebe kya FUFA eky’ebyekikugu.
Jennifer Musisi nga ye Executive Director wa KCCA ne Pulezidenti wa FUFA Ying, Moses Magogo be baatongoza omulimu gw’okuzimba ekisaawe kino mu July omwaka oguwedde.
Okusinzira mu Musisi, KCCA erina pulaani okuzimba amaduuka, paakingi ne woteeri okwetoloola ekisaawe kino wamu n’okuteekako amataala n’abawagizi nga bagulaba batudde mu bbanga ssi ddene.
Ying. Magogo yagambye nti buli ttiimu ya Super yaakufuna omukisa okusambira ku kisaawe kino egya liigi ng’ekwatagana ne KCCA FC.