TOP

Abaddusi babiri bayitiddemu e Namboole okugenda mu olympics

Added 8th July 2016

Abaddusi babiri bayitiddemu e Namboole okugenda mu olympics

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okudduka kisambira waggulu oluvannyuma lw’okumenya likoda okufuna abazannyi abakyasinze obungi okufuna ebisaanyizi b’okwetaba mu mizannyo gya Olympics nga kati baweze 20.

Mu mpaka ezimaze ennaku bbiri e Namboole, abaddusi Thomas Ayeko ng’ono addukira mu kiraabu ya KCCA era ng’adduka mita 10,000 ne 5,000 ye yasoose okufuna ebisaanyizo bino ne kuddako Halima Nakaayi omuddusi wa Kampala University eyabifunye ku ssaawa esembayo mu mita 800.

Nakaayi yaddukidde eddakiika bbiri ne sikonda emu n’obutikitiki 40 ( 2:01.40) n’awangula n’obutikitiki 10 kubanga ekipimo ky’okuyitamu ekya IAF kya butasussa ddakiika 2:01.50.

Nakaayi yabadde mu kujaganya nga yabadde ne Winnie Nanyondo eyamuggulidde ekkubo nga ye yamala dda okuyitamu era nga bombi be bagenda okukiikiirira Uganda mu mita 800 mu Olympics era nga ku basajja tekuli yatuusizza kisaanyizo mu mita zino.

“Nze ani. Katonda munene era mwebaza. Tuyise mu bizibu bingi okutendekebwa okuva ssente Pulezidenti ze yasuubiza lwe zaakoma okututuukako mu November omwaka oguwedde,” Nakaayi asomera mu Yunivasite ya Kampala University bwe yategeezezza.

Wabula abaddusi bano bandibadde basatu wabula Dorcus Ajok yagudde ekigwo ekitaategeerekese bwe yabadde anaatera okutuuka ku kaguwa era nga ye yabadde akulembedde Nakaayi. Kati abaddusi ba Uganda baweze 20 abayiseemu okuvuganya mu mizannyo gya Olympics wabula nga bataano baakusigala.

Kino kiva mateeka ag’ensi yonna agagamba nti buli ggwanga liteekeddwa okuyingiza abazannyi abatasukka basatu mu misinde egya buli mutendera. Mu baayiseemu mu Uganda mulimu aba Marathon (kiromita 42) musanvu nga bana baakusigala ate mu mita 10,000 bali bana nga omu waakusalwako okusinziira ku basinze okukolako obulungi. Kino kyassibwawo okusobozesa buli ggwanga okufuna omukisa okuvuganya mu Olympics.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakristu nga basaba RDC Jjemba (owookubiri ku kkono) ennamba y’essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

RDC agumizza ab'e Kasangati...

OMUMYUKA wa RDC atwala Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba agumizza abatuuze ku kibbattaka...

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...