TOP

FIFA ekkirizisizza FUFA okwewandiisa mu NCS

Added 12th July 2016

Fifa ekkirizisizza FUFA okwewandiisa mu NCS

OKUTYA Bannayuganda kwebabadde nakwo nti omukisa gwa Uganda okweggyako ekikwa ky’emyaka 38 nga teyetaba mu mpaka za Africa ez’akamalirizo gwandigiyita mungalo singa FIFA eneeba ekalize Uganda kuweddewo.

FUFA etuuse ku kukkaanya n’abakakiiko ka National Council of Sports (NCS) akaateekebwawo gavumenti okuwandiisa ebibiina byonna ebiddukanya emizannyo mu ggwanga mu tteeka eppya erifuga emizannyo n’ekiriza okwewandiisa oluvanyuma lwa gavumenti okukakasa abakungu ba FIFA abaze kuno okubaputira bannamateeka ba gavumenti obuwaayiro mu mateeka ga FIFA nti (gavumenti) tejja kweyingiza mu nsonga za kuddukanya mupiira.

Akafubo akamaze essaawa ezisukka mu nya kabadde ku kitebe kya minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo ku Embassy House mu Kampala nga kakubiriziddwa Charles Bakkabulindi minisita omubeezi ow’emizannyo era wekaggweredde  nga FUFA ekkiriza okwendiisa era ne weebwa okutuusa nga August 10 okukola ku byonna ebyetaagisa n’okubiwayo mu NCS okwewandiisa.

“Tukakasizza abakungu ba FIFA nti gavumenti terina ntekateeka yonna yakwenyigira mu nzirukanya ya mupiira mu Uganda era ne bakkiriza FUFA okwewandiisa ne NCS mu tteeka lya gavumenti eppya erifuga emizannyo.” Bwatyo Bakkabulindi bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti okuva ensonga eno lwevudde mu ddiiro kati amaanyi bagenda kugamalira mu kuyambako FUFA kwetegekera mupiira gwa Comoros mu August.

Ye Moses Magogo pulezidenti wa FUFA yategeezezza nti basanyuffu nnyo nti FIFA ne FUFA bamaze ne basisinkana era ne batuuka ku nzikiriziganya era bo beetegefu okwewandiisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu