TOP

Ensonga azaaweesezza Abdallah Mubiru omulimu gwa Vipers

Added 19th July 2016

Ensonga azaaweesezza Abdallah Mubiru omulimu gwa Vipers

 Mulindwa (ku kkono) ng’akwasa Mubiru omujoozi n’omupiira ebimukakasa ku butendesi bwa Vipers. Ky ddyo ye Tadius Kitandwe omu ku mmemba ba boodi ya ttiimu eno.

Mulindwa (ku kkono) ng’akwasa Mubiru omujoozi n’omupiira ebimukakasa ku butendesi bwa Vipers. Ky ddyo ye Tadius Kitandwe omu ku mmemba ba boodi ya ttiimu eno.

OLUVANNYUMA lw’okumala omwaka mulamba ku katebe, eyali omutendesi wa KCCA, Abdallah Mubiru kyaddaaki afunye omulimu gw’okutendeka Vipers FC eya Lawrence Mulindwa. Mubiru yagobwa mu June wa 2015 KCCA n’emusikiza Mike Mutebi sizoni ewedde.

Nga yakakakwasibwa ku mulimu guno, Mulindwa yamulagidde awangule ebikopo ate nga bazannya kawoowo. “Twetaaga Vipers ezannye mu ngeri esikiriza abawagizi okujja mu kisaawe, nga bw’otuwangulira n’ebikopo.” Mulindwa bwe yakutidde Mubiru.

Kati Mubiru y’agenda okubeera omutendesi wa Vipers ow’oku ntikko ng’amyukibwa George Best Nsimbe abadde atendeka ttiimu eno ng’omutendesi omujjuvu, sizoni ewedde.

Edward Golola, eyabawangulira ekikopo kya liigi, agenda kubeera nnamba 3. Mubiru yalangiriddwa eggulo ku Imperial Resort Hotel e Ntebe. Ku mukolo gwe gumu Mulindwa era yalangiridde abazannyi abapya abagenda okwongera okuggumiza ttiimu.

Ibrahim Kayiwa abadde mu Express y’omu ku baalangiriddwa. Kyewuunyisa nti emyaka ebiri emabega, Nsimbe ye yali mukama wa Mubiru mu KCCA ne bagiyamba okuwangula liigi olw’enkolagana yaabwe eyali ennungi.

Kati bazzeemu okusisinkana, kyokka ku mulundi guno, Mubiru ye ‘buyinja’.

LWAKI MULINDWA YALONZE MUBIRU?

Ensonga za CAF; Ekimu ku byetaago by’okutendeka ttiimu eri mu mpaka zonna ezitegekebwa CAF, kwe kubeera n’ebbaluwa y’obutendesi emanyiddwa nga CAF A. Sizoni ewedde, Vipers ye yawangudde ekikopo kya Uganda Cup, ekitegeeza nti balina okukiika mu mpaka za CAF Confederations Cup.

Nsimbe talina bbaluwa eno sso nga Mubiru agirina, era wano Mubiru we yasoose okufuna enkizo ku Nsimbe. Omugagga tabadde mumativu na nkola ya ttiimu sizoni ewedde; Mulindwa yategeeza nga bw’atali mumativu na ngeri ttiimu ye gye yakolamu sizoni ewedde wadde nga yawangula ‘Uganda Cup’.

Mulindwa akkiriza nti Vipers yalina obusobozi obweddiza liigi, kyokka olw’ensonga ezeekuusa ku byekikugu, ttiimu ye yamalira ku kyakubiri. Abadde alina okukyusa mu by’ekikugu okwongera okulaga obutali bumativu.

Ekisa kya Nsimbe; Mulindwa yagambye nti tayagala ttiimu erina kyejo. Agamba nti ayagala abazannyi abeetegefu okulwanirira Vipers nga tebeesaasidde ng’omupiira bagutwala nga bizinensi eyinza okuvaamu ssente eziwera nga bwe kiri e Bulaaya.

Kiyinzika okuba ng’ekisa kya Nsimbe kyakoze kinene okumuggyisaako eky’okubeera omutendesi omujjuvu.

Mubiru si mukambwe nnyo, naye abazannyi tabakwasa kisa.

MULINDWA ALABUDDE ABAZANNYI

Ng’akozesa ebigambo ebyamugambibwa eyali omuzannyi we, Farouk Miya azannyira mu Bulaaya kati, Mulindwa yagambye abazannyi be okukyusa endowooza ku mupiira naddala bwe baba banaagenda ku mupiira gw’ensimbi. “Miya yang’ambye nti e Bulaaya, omupiira bagutwala ng’omulimu era abazannyi baba balowooleza mulimu gwabwe buli ssaawa,” Mulindwa bwe yategeezezza ng’agattako nti omuzannyo bagusse ebbali bongere amaanyi mu buli kye bakola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...