TOP

Engabi erwana kuddamu kuwangula Ngabo

Added 19th July 2016

Engabi erwana kuddamu kuwangula Ngabo

 Emmanuel Magambe ow’Engabi Ensamba (ku ddyo) ng’attunka ne Jackson Mayengo ow’Enjobe.

Emmanuel Magambe ow’Engabi Ensamba (ku ddyo) ng’attunka ne Jackson Mayengo ow’Enjobe.

Leero mu gy’Ebika:

Ndiisa - Njaza

Mbwa - Nte

Egyazannyiddwa

Ngabi Nsamba 3-0 Njobe

Mpindi 1-0 Lugave

BAZZUKULU ba Nsamba abeddira Engabi Ensamba kaweefube w'okuddamu okuwangula Engabo y’empaka z’emipiira gy’Abaganda bamutandise na maanyi.

Bakyampiyoni ba 2013 bano empaka z'omwaka guno baazitandise na kuwuttula Njobe ggoolo (3-0) bwe batyo ne beesogga oluzannya olwokubiri.

Bruhan Matovu, Titus Lubega ne Shafi k Yiga be baateebye ggoolo z' Engabi mu mupiira ogwazannyiddwa mu kisaawe e Nakivubo.

Mu mupiira omulala ogwazzeeko e Nakivubo, Brian Majwega, eyaakadda mu KCCA FC, yakikoze Aboolugave bwe yabateebye n’ayisaamu Empindi ku ggoolo 1-0. Olugave, olwewaana okuba ekimu ku bika ebisinza abantu abangi, lumaze emyaka 12 be ddu nga teruwangula ngabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...