TOP

Gomba eramuza fayinolo y'amasaza

Added 1st August 2016

Gomba Lions bwe bibeera bigere ekimu bamaze dda okukiteeka mu fayinlo y’empaka z’amasaza ga Buganda ey’omwaka guno oluvannyuma lw’okukubira Kyaggwe omwayo mu gw’oluzannya olusooka ku semi.

 Denis Lubowa owa Kyaggwe (wakati) ng'attunka ne Ivan Serubiri owa Gomba mu gw'oluzannya olusooka ku semi y'empaka z'amasaza e Buikwe ku Ssande nga July 31, 2016. Gomba yawangudde 1-0. (STEPHEN MAYAMBA)

Kyaggwe 0-1 Gomba

Buddu 1-0 Busujju

Gomba Lions bwe bibeera bigere ekimu bamaze dda okukiteeka mu fayinlo y’empaka z’amasaza ga Buganda ey’omwaka guno oluvannyuma lw’okukubira Kyaggwe omwayo mu gw’oluzannya olusooka ku semi.

John Musaasizi eyabadde yaakayingira mu kifo kya Mikidad Senyonga ye yateebye ggoolo eyawadde Gomba obuwanguzi ku bugenyi bwe batyo ne bafuna enkizo mu gw’okuddiηηana ku Ssande nga August 7 e Kabulasoke nga Gomba y'ekyazizza.

E Masaka, Buddu yakubye Busujju ggoolo 1-0 eyateebeddwa Umar Kayemba nga kati betaaga kulemagana kwokka  nga baddinganye e Busujju okuyitamu okuzannya fayinolo omwaka ogw’okubiri ogw’omuddiriηηanwa.

Omwaka oguwedde Buddu yakubwa Ssingo 5-0 ku fayinolo eyazannyibwa e Namboole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...