TOP

FUFA esaze tiketi z'ogwa Cranes ne Comoros ebbeeyi

Added 1st August 2016

TIKETI 2,600 ez’okulaba omupiira gw’okufa n’okuwona nga Uganda Cranes ettunka ne Comoros zisaliddwa ebbeeyi.

 Ttiimu ya Uganda eyatandika omupiira gwa Botswana. Abakutamye okuva ku kkono mu maaso; Denis Guma, Khalid Aucho, Isaac Isinde, Farouk Miya, William Luwagga Kizito ne Tony Mawejje. Abayimiridde emabega okuva ku kkono; Joseph Ochaya, Hassan Wasswa,  Denis Onyango, Murushid Jjuuko ne Geofrey Massa.

Ttiimu ya Uganda eyatandika omupiira gwa Botswana. Abakutamye okuva ku kkono mu maaso; Denis Guma, Khalid Aucho, Isaac Isinde, Farouk Miya, William Luwagga Kizito ne Tony Mawejje. Abayimiridde emabega okuva ku kkono; Joseph Ochaya, Hassan Wasswa, Denis Onyango, Murushid Jjuuko ne Geofrey Massa.

September 3 e Namboole

Uganda - Comoros

TIKETI 2,600 ez’okulaba omupiira gw’okufa n’okuwona nga Uganda Cranes ettunka ne Comoros zisaliddwa ebbeeyi.

Tiketi zino zitandika okutundibwa enkya ku Mmande nga August 1 okumala ennaku 10 okuttunka nga August 10 wakati w’essaawa ssatu ez’okumakya ne 11:00 ez’olweggulo e Mengo ku kitebe kya FUFA era oluvannyuma lw’ebbanga lino zaakuggyibwa ku katale olwo ez’ebisale ebitongole zitandike okutundibwa.

Ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde FUFA yafulumizza ebisale by’okulaba omupiira ng’ebirinyisizza mu mitendera gyonna.

Tiketi z’okulabira mu lukale bulijjo ezigula 20,000/- zaayongezeddwamu 5,000/- ne zidda ku 25,000/-, ez’ekikungu zaavudde ku 50,000/- ne zidda ku 60,000/- ate ez’abakungu ennyo ne ziva ku 120,000/- ne zidda ku 150,000/-.

Tiketi zino ze zigenda okulaba omupiira gw’okwegezaamu ne Kenya.

Hussein yayongeddeko nti abawagizi abanaabeera baguze tiketi zino baakuzikozesa okulaba omupiira ogw’okwegezaamu wakati wa Cranes ne Kenya nga August 31 era nga baakuziragayo bulazi ku miryango si zaakubaggyibwako nga bayingira ate baddemu bazikozese okulaba omupiira gwa Comoros nga September 3.

Uganda yetaaga buwanguzi obwengeri yonna okeggyako ekikwa ky’emyaka 38 nga tekiika mu mpaka za Africa ez’akamalirizo ezigenda okubeera e Gabon omwaka ogujja.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...