TOP

Uganda eyiseemu okuzannya mu World Cup y'okubaka e Botswana

Added 1st August 2016

UGANDA eyiseemu okuzannya mu World Cup y’okubaka ey’abali wansi w’emyaka 21 oluvannyuma lw’okumalira mu ky’okusatu mu z’okusunsulamu ezaakomekerezeddwa ku Lwomukaaga.

 Nicholas Muramagi ssaabawandiisi wa NCS (ku kkono) ng'akwasa Joan Nampungu kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga eyabali wansi w'emyaka 21 ey'okubaka eyayisemu okuzannya mu World Cup omwaka ogujja bendeera bwe yali abasibuula nga July 19 okwolekera Botsana ewabadde ez'okusunsulamu. Uganda yakutte kyakusatu emabega wa South Africa ne Zimbabwe. (STEPHEN MAYAMBA)

Uganda yawangudde emipiira 5; Botswana (49-36), Lesotho (87-11),  Zambia (28-21), Namibia (47-26), Malawi (34-29) n’ekubwa ebiri ; Zimbabwe (30-22), South Africa (55-29) n’ekuηηaaganya obubonero 10 emabega wa Zimbabwe (12) ne South Africa (14) etaakubiddwamu bw’etyo n’eyitamu okuzannya mu mpaka z’omwaka ogujja nazo ezigenda okutegekebwa Botswana mu July 2017.

Africa yaakukiikirirwa amawanga 4; 3 agakulembedde mu z’okusunsulamu ezaayindidde  e Botswana okumala wiiki nnamba ne Botswana ng’abategesi.

Ku ntandikwa y’omwezi oguwedde (July), INF ekibiina ekiddukanya okubaka mu nsi yonna kyafulumizza ensengeka nga Uganda erinnye ebifo bibiri okuva mu ky’e 13 n’edda mu ky’e 11 mu nsi yonna .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...