TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Omuwandiisi w'ekibiina kya Pool Table awanduddwa mu mpaka n'asubwa emmotoka ya Nile special

Omuwandiisi w'ekibiina kya Pool Table awanduddwa mu mpaka n'asubwa emmotoka ya Nile special

Added 1st August 2016

Omuwandiisi w'ekibiina kya Pool Table awanduddwa mu mpaka n'asubwa emmotoka ya Nile special

 Moses Otim ng'attunka ne Simon Peter Kampaluze

Moses Otim ng'attunka ne Simon Peter Kampaluze

Abazannyi ba Pool 160 be beesozze oluzannya lwa lijoni oluvannyuma lw’okuvuganya okwabaddewo mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu ku nkomerero ya wiiki.

Mu nzannya ezaabadde ku Rock Catalina e Ntinda, ssabawandiisi w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno ekya Pool Association of Uganda, Moses Otim yakiguddeko bwe yakubiddwa Simon Peter -Kampaluza mu luzannya olusooka ku bugoba 3-1 n’awanduka mu lwokaano lw’okuvuganyiza mmotoka ya Nile Special.

Kampaluza y’omu ku bazannyi abana abaayiseemu ku Rock Catalina okwesogga oluzannya oluddako.

Yinginiya Ronnie Okello naye yalaze nti Pool taliiko buyigirize bwe yavuganyizza era ne yeesogga oluzannya lwa rijoni bwe yakubye Ivan Ashaba ku bugoba 3-0 n’agamba nti nemu 2012 yayitamu okuzannya fayinolo e Lugogo nga tebanatandika kugaba mmotoka.

Abalala abaayitiddemu ku Rock Catalina ye Tony Mukasa ne Shafiq Wabuwale.  Wabula abazannyi ba Pool ab’amannya bakyepenye okuvuganya nga bangi balinda kugenda mu byalo gye basuubira omukenya mu jjenje ekkalu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...