TOP

Villa ngikomya sizoni eno - Ying. Misagga

Added 2nd August 2016

LIIGI ya Azam Uganda Premier League etandika nga August 19. Villa y'emu ku ttiimu ennene ezisuubirwa okulwanira ekikopo. BUKEDDE yatuukiridde Pulezidenti waayo, Ying. Ben Misagga n'amutegeeza enteekateeka zene by'akoze bukya akomawo mu ttiimu eno.

 Misagga ng'annyonnyola.

Misagga ng'annyonnyola.

LIIGI ya Azam Uganda Premier League etandika nga August 19. Villa y'emu ku ttiimu ennene ezisuubirwa okulwanira ekikopo. BUKEDDE yatuukiridde Pulezidenti waayo, Ying. Ben Misagga n'amutegeeza enteekateeka zene by'akoze bukya akomawo mu ttiimu eno.

Owulira otya okubeera pulezidenti wa Villa?

Buli muntu yandyagadde abeereko omukulembeze mu ttiimu ennene nga Villa naye omulimu ogwo si mwangu. Abafere abakutuukirira bangi era mu kusooka nnatomezebwa abantu be nnali mpita abatuufu kumbe nga bafere, ne banguza abazannyi abatalina makulu. Ekirala n'abantu bokolagana nabo oluusi tebakuyamba.

Omuwagizi wa Villa asuubire ki sizoni ejja?

Sizoni ejja twagala kuwangula bikopo era twamaze okuyungula ttiimu mwe tusuubira okufuna buli kye twetaaga. Tufunye abateebi, abatendesi n'abazannyi abalungi era abawagizi beesunge ssanyu lyokka.

Lwaki mu bbanga lyonna okomezzaawo nnyo abazannyi abaaliko mu ttiimu?

Emirundi egisinga abazannyi abaaliko mu Villa, baali bawagizi baayo era balina abantu ababawagira. Mu kaweefube w'okukomyawo abawagizi mu kisaawe, nnalaba ng'ekisinga kwe kukomyawo abazannyi be bawagira kubanga baali baagala okulaba bwe bazannya. Kisaalita babadde bamummanja nga bwe gwali ku Hakim Magumba.

Kyama ki ky'olina mu bazannyi abaaliko mu CHAN ne CECAFA?

Njagala Villa ebeere nga yeesinza abazannyi ku Cranes ne ttiimu z'eggwanga endala. Bwe twakiika, twafuna essomo kubanga twalina abazannyi abalungi naye twalema okweyongerayo kubanga tetwalina bazannyi balina bumanyirivu.

Lwaki ttiimu wagiggye e Nakivubo okudda e Namboole?

Villa y'esinga abawagizi nga tewali nsonga lwaki tekozesa kisaawe kinene nga Namboole. Ekirala, Nakivubo erina awasimba emmotoka watono, sso nga babadde batusaba ne ssente nnyingi; emitwalo 70 buli mupiira ng'ate Namboole ya mitwalo 50. Ate ng'oggyeeko okuba nti bakyalina emivuyo, abaddukanya Nakivubo bwe twabawandiikira tebaatuddamu.

Isaac Muleme ne banne lwaki wabagobye?

Omupiira ennaku zino gwafuuka gwa bizinensi. Muleme abadde muzannyi mulungi eri abawagizi, wabula si mu ttiimu. Villa yeetaaga abazannyi abagireetera ssente, ate abo tebatunda mijoozi. N'abawagizi ababakaabira bw'obabuuza lwaki tebambala mujoozi gwa Muleme tebalina kye baddamu.Kati omuwagizi bw'aba tasobola kuteeka linnya lyo ku mujoozi gwe, ttiimu obeera okyagigasa? Twagala abazannyi abalungi ku kisaawe nga basobola n'okututun-dira emijoozi.

Lwaki mu kisanja kyo okyusizza nnyo abobukiiko?

Nnali nsuubira buli muntu gwe nnalonda okwagala Villa era agikolere n'omutima gumu, naye nkoze nnyo n'abantu abatagyagala are nga tebasobola kutukwasizaako. Bwenzuula atalina mutima gwa ttiimu, ng'atuviira.

Mu kisanja kyo Villa ekyusizza nnyo abatendesi. Kivudde ku ki?

Kituufu nnaakakozesa abatendesi bana mu myaka esatu, naye bonna tebabadde bange. Steven Bogere nnamusangawo, Sam Ssimbwa abawagizi be baamuleeta ate Antonio Flores waliwo omukyala mukwano gwa ttiimu (Lindiwee) abeera mu Bungereza ye yamutuleetera. Kirya yekka gwe nnaleeta naye ye tabadde mutendesi mujjuvu.

Olwo Kirya ye wagoba waaki?

Nnamuwa omukisa afune munne amumyuka bwe banaakwatagana obulungi basigaze ttiimu, bwe kyamulema omulimu ne tugulanga, okukkakkana nga tufunye Deo Sserwanda.

Sserwadda anaatusa Villa wogyagala?

Omuntu eyali azaddeko toyinza kubuuza oba azaala. Sserwadda yali awanguddeko liigi ne Uganda Cup ng'akyali mu URA ate Bisaso atutte ku bikopo ebiwera mu mpaka z'amasaza. Ekirala, Sserwadda alina omutima gwa Villa kuba yakula agiwagira.

Kiki ekyatuuka ku Joogo Young?

Bapulezidenti abaansookawo mbanenya okwonoona ttiimu. Ttiimu ez'amaanyi ze tutendereza mu Afrika nga TP Mazembe tezirina akademi naye zirina ebikopo okusinga ezirina.

Abamu ku Villa b'evuganya nabo balina ebisaawe eby'obwannanyini. Ekya Villa kituuse wa?

KCCA ttiimu ya kitongole era eyo tetuli mu ttuluba lye limu, ate Express nayo epangisa. Wabula nga sinnavaawo omwaka ogujja, nja kufuba ndabe nga ndekawo ettaka pulezidenti addako kw'aba atandikira.

Ky'ogamba tokamawo?

Haaaa. Kizibu. Si lwakuba nti mpeddemu, wabula Villa yammalako obulamu bwange obwa bulijjo. sikyasobola kubeera mu bifo bye nnabeerangamu, era ntambulira ku bunkenke. Abawagizi banoonye pulezidenti anansikira mu bigere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...