TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Namayanja agulidde ttiimu y'ekika ky'Omutima Omuyanja emigogo gy'engatto

Namayanja agulidde ttiimu y'ekika ky'Omutima Omuyanja emigogo gy'engatto

Added 3rd August 2016

MUZZUKULU wa Kakeeto, Rosemary Namayanja adduukiridde ttiimu y’ekika kye eky’Omutima Omuyanja bw’abagulidde emigogo gy’engato 18 empya ttuku n’abatuma engabo.

 Rogers Mulindwa (owookusatu ku ddyo) ng'akwasa John Mary Luberenga, katikkiro w'ekika ky'Omutima Omuyanja emigogo gy'engatto omuwanika w'ekibiina kya NRM Rosemary Namayanja (mu katono) ze yagulidde ttiimu y'ekika ku Lwokubiri nga August 2, 2016 mu kutendekebwa ku kisaawe kya Nakasero P/S. (STEPHEN MAYAMBA)

Rogers Mulindwa (owookusatu ku ddyo) ng'akwasa John Mary Luberenga, katikkiro w'ekika ky'Omutima Omuyanja emigogo gy'engatto omuwanika w'ekibiina kya NRM Rosemary Namayanja (mu katono) ze yagulidde ttiimu y'ekika ku Lwokubiri nga August 2, 2016 mu kutendekebwa ku kisaawe kya Nakasero P/S. (STEPHEN MAYAMBA)

MUZZUKULU wa Kakeeto, Rosemary Namayanja adduukiridde ttiimu y’ekika kye eky’Omutima Omuyanja bw’abagulidde emigogo gy’engato 18 empya ttuku n’abatuma engabo.

Namayanja omuwanika w’ekibiina kya NRM  obubaka bwe yabutisse Rogers Mulindwa eyabutusiza eri ttiimu gye yasanze mu kutendekebwa ku kisaawe ky’essomero lya Nakasero P/S ku Lwokubiri.

Olwaleero Omutima Omuyanja guzannya Enjaza ku luzannya lwa ttiimu 16 mu kisaawe kya Muteesa II e Wankuluku ng’omuwanguzi wa kwesogga oluzannya lwa ‘quarter’ fayinolo.

Mulindwa engatto yazikwasizza John Mary Luberenga, Katikkiro w’Ekika ky’Omutima Omuyanja naye eyazikwasizza Dear Luswata kapiteeni wa ttiimu eno.

“Omukulu (Namayanja) antisse obubaka bwa mirundi esatu; obusooka okubayozaayoza okuyitamu okutuuka ku luzannya olwokubiri, okubazzaamu amaanyi n’okubaagaliza obuwanguzi ng’abakakasa nti agoberera ebigenda mu maaso n’okusingira ddala okubawa engato zino z’agambye nti muzikozese kuteeba ggoolo si kutema bantu era abagaaza ngabo,” Mulindwa bwe yategeezezza.

Luberenga oluvannyuma lw’okukwasibwa engato yategeezezza nti basanyufu nnyo olw’ekikolwa kya Namayanja gwe yayise ‘Mpulidde Kamenya waabwe’ n’asaba abazzukulu abalala bonna gye bali nga balina obusobozi okubaako obuyambi obwengeri yonna bwe bawa ttiimu y’ekika kubanga bwo bakyabwetaaga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...