TOP

FUFA eyisizza amateeka amapya aganaagobererwa mu Liigi

Added 5th August 2016

FUFA eraalise kiraabu ezisambira mu Azam Super League ne Big League nte tezijja kuweebwa layisinsi z’abasambi nga tebasoose kufuna paasipoti.

 Dicolas Kiiza akulira eby'ensimbi mu FUFA ng'aliko by'annyonyola. (Ekif: Silvano Kibuuka)

Dicolas Kiiza akulira eby'ensimbi mu FUFA ng'aliko by'annyonyola. (Ekif: Silvano Kibuuka)

FUFA eraalise kiraabu ezisambira mu Azam Super League ne Big League nte tezijja kuweebwa layisinsi z’abasambi nga tebasoose kufuna paasipiito.

Akulira eby’ensimbi mu FUFA, Dicolas Kiiza y’ategeezezza nti lino lye limu ku mateeka agassiddwawo ekibiina kino okumalawo emivuyo egibaddewo ng’abasambi abamu bafuna emikisa okutwalibwa ku ttiimu y’eggwanga mu kaseera akatono  okusamba emipiira egy’embagirawo wamu n’ababa bafunye omukisa okugenda okugezesebwa ebweru kyokka nga tebalina paasipoota.

Kiiza yayongeddeko nti FUFA yasazeewo abasambi bonna mu liigi endala bateekeddwa okubeera n’endagamuntu kibasobozese okukakasibwa nti Bannayuganda.

Bino Kiiza yabyogeredde Mengo ku kitebe kya FUFA.

“Paasipoota kati za buwaze eri kiraabu za Super Azam ne Big League. Teri kiraabu egenda kufuna layisinsi ng’omuzannyi tannafuna paasipoota. Abazannyi b’omupiira 30 ku buli 100 baagaana okufuna endagamuntu wabula nga nazo zigenda kati za buwaze kubanga okuzigaba kukyagenda mu maaso,” Kiiza bwe yategeezezza.

Kizza yannyonnyodde nti batandise okutalaaga mu kiraabu ez'enjawulo okubayirigiza amateeka amaggya 103 agaakyuse mu mupiira mu nsi yonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu