TOP

KIGWO GGUMBYA:Abamegganyi 50 bawaga

Added 7th August 2016

KIGWO GGUMBYA:Abamegganyi 50 bawaga

 Abamu ku bamegganyi nga bawaga.

Abamu ku bamegganyi nga bawaga.

LEERO (Ssande) ekigwo ggumbya ekya Bukedde Fa Ma Embuutikizi lwe kuggulwawo mu butongole ku mbuga y’essaza ly’e Kyaggwe e Ggulu mu disitulikiti y’e Mukono.

Abamegganyi 50 okuva mu masaza ga Buganda 5 beeswanta nga bagamba nti be balina okuyitamu okwesogga fayinolo eribeera mu kisaawe e Wankulukuku nga October 2.

Buli ssaza kw’ago 5 okuli; Bulemeezi, Bugerere, Buluuli, Buvuma ne Kyaggwe, likiikiriddwa abamegganyi 10 nga ku bano bonna, babiri abanaasinga, be bajja okwetaba ku luzannya olw’akamalirizo.

Maneja wa Bukedde Fa Ma, Yawe Kabanda yategeezezza nti, “Abalamuzi b’ekigwo bagenda kusinga kutunuulira obukodyo bw’anaayolesa ssaako engeri gy’anaasibamu enkalu.” Leediyo ya Bukedde Fa Ma eyambiddwaako kkampuni ekola ekyokunywa kya Rock Boom, Prestige Margarine abakola ebisiigibwa ku migaati, Kamoga Property Consultants eyawaddeyo ekyapa ekinaaweebwa omuwanguzi, Kapale Dypers ne New Best Furniture abakola ebibajje.

Ku mukolo gwa leero, mugenyi omukulu agenda kubeera Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo. Ekigwo ekiddako kyakubeera Mpigi nga August 21.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...