TOP

Bannayuganda batandise bulungi mu za Uganda Golf Open

Added 11th August 2016

Bannayuganda baatandise bulungi mu mpaka za Golf eza Uganda Open ez’omulundi ogwe 82 ezitandise ku kisaawe kya Kitante Golf Club e Kololo.

 Abamu ku bazannyi ba Golf e Kitange nga bavuganya mu mpaka za Uganda Open Aug 10 2016./ (ekif: Silvano Kibuuka)

Abamu ku bazannyi ba Golf e Kitange nga bavuganya mu mpaka za Uganda Open Aug 10 2016./ (ekif: Silvano Kibuuka)

Empaka za Golf eza Uganda Open:

1.Adolf Muhumuza 71

2.Joseph Cwinya-al 71

3.Samuel Kato  73

4.Ronald Otire 74

5.Joel Basalirwa 74

6.Alfred Nandwa 74 (Ken)

7.Paul Mucangi 74 (Ken)

8.A. Nsabimaba 74 (Rwa)

9.Joel Basabose 75

10.Yusuf Sentongo 75.

Bannayuganda baatandise bulungi mu mpaka za Golf eza Uganda Open ez’omulundi ogwe 82 ezitandise ku kisaawe kya Kitante Golf Club  e Kololo.

Empaka zino zagguddwawo omukungu wa Uganda Breweries, Juliana Kaggwa nga zeetabiddwamu abazannyi abasoba mu 100 abasajja nga mulimu n’abavudde e Kenya ne Rwanda.

Omuzannyi Adolf Muhumuza ne Joseph Cwinja-al abazannyira kiraabu ya Tooro be baakulembedde oluzannya olusooka n’obubonero 71 buli omu ne kuddako Samuel Kato eyafunye 73.

Kyampiyooni w’empaka zino omwaka oguwedde, Ronald Otire nga kati abeesa South Africa ali mu kyakuna ng’asibaganye ne Joel Basalaine ku bubonero 74.

Alfred Nandwa ne A. Muchangi (Kenya) baamalidde ku 74 so nga A. Nsabimana (Rwanda) nabo balina obubonero 74.

Empaka zino ez’okumala ennaku ssatu e Kitante zinoonya kyampiyooni wa Uganda Open ow’omulundi ogwe 82 nga zisasuliddwa aba Tusker Lager.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...