TOP

Ochaya yeewangulidde kapyata y'omuzannyi wa sizoni

Added 13th August 2016

Ochaya eyayamba ttiimu ye okuwangula liigi yamezze Robert Sentongo eyali owa URA FC eyasinga abateebi ne ggoolo 18 saako ne Erisa Sekisambu owa Vipers SC eyamudirira ne ggoolo 16.

 Maj. Gen. Muhoozi Kainerugaba eyabadde omugenyi omukulu ng'akwasa Joseph Ochaya eyawangudde eky'omuzannyi w'omwaka mu liigi ya Uganda Premier League sizoni ya 2015/16 ebisumuluzi bya mmotoka gye yawangudde. (STEPHEN MAYAMBA)

Maj. Gen. Muhoozi Kainerugaba eyabadde omugenyi omukulu ng'akwasa Joseph Ochaya eyawangudde eky'omuzannyi w'omwaka mu liigi ya Uganda Premier League sizoni ya 2015/16 ebisumuluzi bya mmotoka gye yawangudde. (STEPHEN MAYAMBA)

OMUZIBIZI wa KCCA FC ne Cranes Joseph Ochaya yavudde ku wooteeri ya Serena nga teyeetegera olw’essanyu oluvannyuma lw’okulondebwa ng’omuzannyi eyasinga banne mu liigi y’eggwanga eya Azam Uganda Premier League bw'atyo ne yeewangulira kapyata ya Subaru Forester.

Ochaya eyayamba ttiimu ye okuwangula liigi yamezze Robert Sentongo eyali owa URA FC eyasinga abateebi ne ggoolo 18 saako ne Erisa Sekisambu owa Vipers SC eyamudirira ne ggoolo 16.

Ochaya yadde muzibizi yateeba ggoolo 7 era yasibagana ne Muzamir Mutyaba ng’abazannyi abasinga okutebeera KCCA FC mu kampeyini y’okusuuza Vipers SC ekikopo.

Ebisumuluzo bya mmotoka Ochaya byamukwasiddwa Maj. Gen Muhoozi Kainerugaba, eyabadde omugenyi omukulu kwe baasimidde n’abazannyi abalala bangi wamu n’abantu ab’enjawulo mu biti eby’enjawulo omwabadde omutendesi eyasinga ne bannamawulire abaasinga okusasaanya amawulire ku liigi.

Abalala abawangudde;

Mike Mutebi  owa KCCA FC- mutendesi eyasinga,  Keneth Magada – Mutendesi wa bakwasi ba ggoolo, Miiro Brian Nsubuga – ddiifiiri eyasinga, Vipers SC – ttiimu eyasinga empisa, Ali Kafeero owa KCCA FC ye muwagizi eyasinga banne, Halid Lwalira owa Vipers – omuzannyi omuto eyasinga, Simeone Masaba owa URA – omuzannyi asinze okulwa mu ttiimu, Martin Kizza owa SC Villa – omuzannyi eyasinga okusanyusa ku ttivvi, Robert Ssentongo eyali owa URA ye yasinga abateebi ne ggoolo 18, Mathias Muwanga owa Sadolin ye mukwasi wa ggoolo owa sizoni, Musa Walangalira owa  JMC- omuzinizi eyasinga, Mutyaba Muzamiru owa KCCA FC – omuwuwutannyi eyasinga bane, Musa Esenu owa Vipers ye muzannyi abawagizi gwe baalonze ng’owa sizoni.

Omukolo gwabaddeyo ekiro ky’olwokutaano nga August 12, 2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Musabire eggwanga nga twete...

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya...

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...