TOP

Ab'Obutiko bajaganyizza okuwangula Emmamba Gabunga

Added 13th August 2016

Maneja w’Obutiko Musiitwa Mulasa Bbirikadde agambye nti bagenda kukola ekyafaayo okusitukira mu Ngabo y’omupiira gw’Ebika omwaka guno.

 Abasambi b'Obutiko nga bajaganyiza ggoolo. Baawangudde Emmamba Gabunga 1-0 e Wankulukuku Aug 11 2016. (ekif: Silvano Kibuuka)

Abasambi b'Obutiko nga bajaganyiza ggoolo. Baawangudde Emmamba Gabunga 1-0 e Wankulukuku Aug 11 2016. (ekif: Silvano Kibuuka)

Njaza 1 Nte 3

Butiko 1 Mmamba Gabunga 0

Maneja w’Obutiko Musiitwa Mulasa Bbirikadde agambye nti bagenda kukola ekyafaayo okusitukira mu Ngabo y’omupiira gw’Ebika omwaka guno.

Kino kiddiridde Obutiko okuwandula Emmamba Gabunga mu luzannya olusooka bwe baabakubye ggoolo 1-0 e Wankulukuku eggulo ku Lwokutaano.

“Kino kyafaayo. Tuzze twenywezezza era tujja kusitukira mu Ngabo,” Maneja wa ttiimu era nga ye mukulu w’Essiga, Musiirwa Bbirikadde bwe yategeezezza.

Sadala Ddumba ye yalinnyisizza Obutiko ku ntikko bwe yateebye mu ddakiika eya 50 abawagizi ne bawaga nti okuwangula Emmamba esuutibwa kyenkana n’okumeza akatiko mu kkolaasi.

Ab'Obutiko nga bajaganyiza ggoolo e Wankulukuku. (ekif: Silvano Kibuuka)

 

Emmamba ebadde yeesigamye ku muteebi Eric Sebuguzi agusambira mu Soana n’omukwasi wa ggoobo Brian Bwete nga y'akwatira kiraabu eyo era nga ye kapiteeni wa ttiimu ssaako omuwuwuttanyi wa SC Villa Tadewo Lwanga.

Obutiko bwabadde buyimiridde ku musambi wa SC Villa Godfrey Lwasibawa era nga ye kapiteeni.

Wabula omutendesi w’Emmamba Gabunga, Cyrus Nsubuga yagambye nti balinze guddako nga bakyaza Obutiko.

“Ekirungi tuwanguliddwa ku bugenyi. Ensobi zibaddewo era abaana bategedde eky’okukola mu guddako,” Nsubuga bw’ategeezezza.

Ente eyawangula mu 2010 bwe yakuba Ekkobe 1-0 nayo yasambidde waggulu nga jjanzi bwe yakubye Enjaza ggoolo 3-1 mu luzannya olusooka nga baddiηηana August 16.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...

Abayizi baakukola ebibuuzo ...

EKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, si kyakusazaamu lunaku lwa Mmande enkya olw'abakyala mu nsi yonna okuwummula,...

RDC Kalema ng’ali n’omumyuka w’akulira essomero lya Budde UMEA e Butambala.

Amasomero ga gavumenti gafu...

OMUBAKA wa gavumenti mu Butambala akoze ebikwekweto mu masomero ag'enjawulo okufuuza abatagondera mateeka ga corona...

Abatunda ennyama y’enkoko mu kkiro ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa.

Okusuubula enkoko n'ozonger...

OKUSUUBULA enkoko z'ennyama bw'ozongerako omutindo ofunamu ekisingako ku kye wandifunye. Kino kizingiramu okusuubula...

Ku kkono; Gerald Siranda (DP), Jimmy Akena (UPC), Pulezidenti Museveni ssentebe wa NRM (wakati),Nobert Mao (DP) , Kasule Lumumba (NRM) ne Frank Rusa akulira IPOD.

▶️ Museveni akkirizza okuyi...

PULEZIDENTI Museveni alagidde okuyimbula abamu ku basibe 51 abaakwatibwa ku nsonga z'okugezaako okutabangula emirembe...