TOP

Nile Breweries evuddeyo ku gwa Cranes

Added 15th August 2016

Nile Breweries evuddeyo ku gwa Cranes

Omutendesi wa Cranes Sredojevic Micho alabudde abasambi abali ebweru nti baleme kweyibaala kubanga abatabeere ku mutindo tajja kubawa mupiira nga Cranes esamba Comoros e Namboole nga September 4 ng’enoonya okuyitamu okusamba egya Africa Cup of Nations e Gabon omwaka ogujja.

Micho ategeezezza nti ttiimu agirangirira August 24 olwo batandike okutendekebwa nga 25-28 nga beetegekera ogwa Kenya ogw’omukwano. Okuttaanya ensobi kuliwo wakati  wa August 31 – Seprember 2 nga Cranes eyungula ttiimu eneesamba Comoros.

Wabula Micho asabye FUFA eyongere okuperereza CAF okusigala ng’omupiira gwa Comoros gusambibwa misana mu kifo ky’essaawa 2:30 ez’ekiro. “Mmanyi nti CAF eyagala omupiira gusambibwe ku ssaawa ze zimu n’ogwa Burkina Faso.

Naye tulina ekizibu nti abasambi baffe tebamanyidde mipiira gya kiro so ng’aba Comoros liigi yaabwe basinga kugisamba kiro. Ekirala nti ebitaala byaffe tebyesigika so nga n’abawagizi abamu naddala abakakulu tebatenda kusobola mupiira gwa kiro,” Micho bw’ategeezezza. Agambye nti afunye ekifo ekyekusufu awali ebitaala w’agenda okubangulira abasambi okumanyiira omupiira gw’ebitaala.

Bbo aba Nile Breweries bongedde okunnyikiza kampeyini yaabwe eya ‘Cranes na Mutima - Tulumbe’ ne bakowoola Bannayuganda okutandika okwambala omujoozi gwa Cranes omutuufu buli Lwakutaano nga beetegekera Comoros.  

“Twagala kuwa Bannayuganda bonna omukisa okulaba omupiira era tujja kuteebawo ebibanda ebinene mu kisaawe kya Cricket e Mbale, Mbarara Independence Ground ne Lira Mayors Gardens abawagizi b’ewala basobole okunyunirwa omupiira gwa Cranes,” kitunzu wa Nile Breweries Samuel Mbabazi bw’ategeezezza.

Ye omusambi wa Cranes Joseph Ochaya akoowodde Bannayuganda okutenda abangi e Namboole okuwagira ttiimu. “Abasinga tetukyebaka nga tulowooza kuyitamu. Twagala okuwa Bannayuganda essanyu ate naffe okwetuunda,” Ochaya bw’ategeezezza bw’abadde ne Denis Okot nga bakiikiridde abasambi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...