TOP

Bapulo ab'ekibogwe sijja kubayita - Micho

Added 16th August 2016

Omutendesi wa Cranes, Sredojevic Micho alabudde bapulofeesono nti baleme kweyibaala kuba abatabeere ku mutindo, tajja kubawa gwa Comoros.

 Micho ne Mbabazi (ku ddyo).

Micho ne Mbabazi (ku ddyo).

Ku September 4 mu z’Afrika: Cranes - Comoros, 2:30

Omutendesi wa Cranes, Sredojevic Micho alabudde bapulofeesono nti baleme kweyibaala kuba abatabeere ku mutindo, tajja kubawa gwa Comoros.

Nga September 3, ttiimu zombi zittunka nga Cranes enoonya buwanguzi bwokka okugenda mu z’Afrika e Gabon omwaka ogujja.

Micho yategeezezza nti nga August 24, lw’alangirira ttiimu olwo batendekebwe wakati wa August 25-28 nga beetegekera Kenya ogw'omukwano nga August 31 e Namboole.

Micho yasabye FUFA eperereze CAF omupiira gwa Comoros guzannyibwe misana mu kifo ky'essaawa 2:30 ez'ekiro ku Ssande nga September 4.

Bino Micho yabyogeredde Luzira ku mukolo aba kkampuni ya Nile Breweries kwe baatongolezza kampeyini ya Nile Special Cranes-Comoros Campaign egenderera okukunga abawagizi okugenda okulaba ogwa Comoros.

"Mmanyi nti CAF eyagala omupiira gusambibwe ku ssaawa ze zimu n'ogwa Burkina Faso. Naye tulina ekizibu nti abasambi baffe tejjumbira mipiira gya kiro sso ng'aba Comoros liigi yaabwe basinga kugisamba kiro.

Ekirala ebitaala byaffe tebyesigika sso nga n'abawagizi abamu tebatenda mipiira gya kiro," Micho bwe yategeezezza.

Baakussaawo ttivvi: Kkampuni ya Nile Breweries eyongedde okunnyikiza kampeyini ya 'Cranes na Mutima - Tulumbe' ne bakowoola Bannayuganda okutandika okwambala emijoozi gya Cranes buli Lwakutaano nga beetegekera Comoros.

"Twagala kuwa Bannayuganda omukisa okulaba omupiira era tujja kussaawo ebibanda ebinene mu kisaawe kya cricket e Mbale, Mbarara Independence Ground ne Lira Mayors Gardens abawagizi b'ewala nabo banyunirwe omupiira guno," kitunzi wa Nile Breweries, Samuel Mbabazi bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabalabirizi Kazimba ng’abuulira mu kusaba eggulo.

Abaawanguddwa temwekwasa ba...

SSAABALABIRIZI w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu asabye baminisita ba Pulezidenti Museveni abaawanguddwa...

Ababaka ba NUP abaalondeddwa; Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North (ku kkono), Seggona owa Busiro East,Mathias Mpuuga ne Abdala Kiwanuka (ku ddyo) bwe baabadde bagenda okwogerako ne bannamawulire.

Aba NUP bafunye obujulizi b...

ABAMU ku bakulembeze ba NUP n'ababaka abaawangudde akalulu bategeezezza nga bwe balina obujulizi mu bitundu byabwe...

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...