
Ttiimu ya Uganda eyatandika omupiira gwa Botswana. Abakutamye okuva ku kkono mu maaso; Denis Guma, Khalid Aucho, Isaac Isinde, Farouk Miya, William Luwagga Kizito ne Tony Mawejje. Abayimiridde emabega okuva ku kkono; Joseph Ochaya, Hassan Wasswa, Denis Onyango, Murushid Jjuuko ne Geofrey Massa. EKIF: STEPHEN MAYAMBA
CAF ekkirizza okulaajana kwa FUFA n'ekola enkyukakyuka mu ssaawa omupiira gwa Cranes ne Comoros kwe gulina okuzannyibwa newankubadde ng’olunaku terukyuse.
Wiiki ewedde ku Lwokusatu, CAF ekibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna kyasazeewo ne kikyusa emipiira gyonna egiriko okuvuganya n’okusalawo ku ttiimu ezinaayitamu okuzannya mu z’akamalirizo mu za AFCON 2017 gyonna gizannyibwe ku Ssande nga September 4 mu kifo kya September 3 okwewala 'sindikeeti'.
Mu mbeera eno n’omupiira, ogw’okufa n’okuwona wakati wa Cranes ne Comoros mu kibinja D gwakyusiddwa ne guzzibwa ku Ssande okuva ku Lwomukaaga nga FUFA bwe yali esabye.
Oluvannyuma lw’okufulumya ennaku zino empya FUFA yeekubidde enduulu mu CAF ng’egisaba okubalowoozako kubanga ebirango ne tiketi ezikubwa bibadde biranga Lwamukaaga.
Enkya ya leero (Lwakubiri August 16) FUFA efunye ebbaluwa okuva mu CAF ebateegeeza ku nkyukakyuka ezikoleddwa ng’ekyusizza essaawa omupiira kwe gugenda okutandikira okuva ku 2:30 ez’ekiro ne guzzibwa ku 11:00 ez’olweggulo.
Uganda yetaaga buwanguzi bwokka mu mupiira guno okuyitamu okuzannya mu mpaka za Africa ez’akamalirizo ze yakoma okwetabamu mu 1978.