TOP

Ayise ssita w'e Bungereza azibe eddibu lya Guma

Added 25th August 2016

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevic alangiridde ttiimu y’abazannyi 32 abagenda okutandika okwetegekera Comoros mw’ayitidde omuzibizi Bevis Mugabi azannyira mu Yeovil Town ey’ekibinja ekyokuna e Bungereza.

 Bevis Mugabi ng'ali mu kutendekebwa

Bevis Mugabi ng'ali mu kutendekebwa

August 31 e Namboole: Uganda - Kenya

September 4 mu z’Afrika: Uganda - Comoros, 11:00

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevic alangiridde ttiimu y’abazannyi 32 abagenda okutandika okwetegekera Comoros mw’ayitidde omuzibizi Bevis Mugabi azannyira mu Yeovil Town ey’ekibinja ekyokuna e Bungereza.

Cranes, yaakuttunka ne Comoros nga September 4 e Namboole mu mupiira gw’erina okuwangula okuyitawo okuzannya ez’Afrika ez’akamalirizo omwaka ogujja e Gobon.

Guno mulundi gwakubiri mu kampeyini eno nga Micho ayita abazannyi abatabadde mu sisitiimu ya Cranes nga ku mupiira nga beetegekera Botswana, yayita omuteebi Melvyn Lorenzen owa Bremen mu Girimaani kyokka n’atazannya.

Nga Bevis tenneegatta ku Yeovil Town mu sizoni ya 2016/17, yabadde azannyiddeko Fulham ne Southampton mu batasussa myaka 17 kyokka kati Yeovil gy’alimu emipiira esatu (Walsall, Morecambe ne Everton mu League Cup) egisembyeyo agizannye.

Wano Micho we yasinzidde n’ategeeza bannamawulire ku kitebe kya FUFA e Mengo eggulo nti omuzibizi ono mulungi era amulinamu essuubi nti asobola okuyamba Uganda kuba aludde ng’amugoberera okuva ng’akyali mu Southampton .

“Bevis tagenda kutuyiwa kuba tuludde nga twogerezeganya n’atukakasa nti yeetaaga nnyo okuzannyira ensi ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...