TOP

Comoros ejjidde mu biwagu okuttunka ne Cranes

Added 1st September 2016

Ttiimu ya Comoros egenda okuttunka ne Cranes mu gw’okusunsulamu abalizannya ez’Afrika omwaka ogujja e Gabon, leero lw’esuubirwa okutuuka mu ggwanga kyokka nga yaakujjira mu biwagu.

 Abazannyi ba Cranes mu kutendekebwa ku kisaawe kya Kampala International School e Bukoto ku Lwokuna nga August 25, 2016. (STEPHEN MAYAMBA)

Abazannyi ba Cranes mu kutendekebwa ku kisaawe kya Kampala International School e Bukoto ku Lwokuna nga August 25, 2016. (STEPHEN MAYAMBA)

Ku Ssande mu z’Afrika: Uganda – Comoros, 11:00

Ttiimu ya Comoros egenda okuttunka ne Cranes mu gw’okusunsulamu abalizannya ez’Afrika omwaka ogujja e Gabon, leero lw’esuubirwa okutuuka mu ggwanga kyokka nga yaakujjira mu biwagu.

Omupiira guno gusuubirwa okubaako n’obugombe kuba Cranes yeetaaga buwanguzi bwokka okuyitamu.

Agava mu nkambi ya Comoros gaategeezezza nti ttiimu yaabwe yaakutambulira mu biwagu ng’ekibinja ekisooka eky’abazannyi abali mu liigi y’awaka (eya Comoros) baakutuuka nkya (Lwakutaano) sso ng’abaguzannyira ensimbi basuubirwa okutuuka leero.

FUFA yategeezezza nti abakulira omupiira e Comoros baabawandiikidde ne babategeeza nti batuuka ku kisaawe e Ntebe leero nga baakusula ku wooteeri ya Imperial Royale nga bwe balinda bannaabwe.

Bapulo ba Comoros baakusimbula mu Bufalansa gye baasoose okukuhhaanira mu kibuga Marseille.

Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein, yagambye nti,

“Aba Comoros baatuweerezza pulogulaamu yaabwe nga baakujjira mu bibinja bibiri.

Ekisooka, eky’abaguzannyira ensimbi, kituuka leero olwo abazannyira ku butaka e Comoros bagoberere enkya,” Hussein bwe yategeezezza abaamawulire.

Mu ngeri y’emu, obweralikirivu bw’omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic ku muzannyi Khalid Aucho bwaweddewo, eggulo abasawo bwe baategeezezza nti yassuuse.

Ku Lwokubiri, nga Cranes eremagana ne Kenya (0-0) e Namboole, Aucho yafulumye ekisaawe ng’awonyeggera oluvannyuma lw’omuzannyi wa Kenya, Otieno Eric Ouma okumulinnya akakongovvule.

Omwogezi wa Cranes ku mupiira guno, Hamza Nsereko yategeezezza nti obuvune bwa Aucho tebutiisa oluvannyuma lw’omuswo wa ttiimu eno, Ronald Kisolo okumwekebejja n’abakakasa nti ajja kubeerawo ku Ssande.

Aucho, yeetabye mu kutendekebwa kw’eggulo okwabadde okwekimpoowooze ku kisaawe kya yunivasite ya IUIU e Kabojja. Micho yategeezezza nti olw’okuba abazannyi be baabadde bakoowu olw’omupiira gwa Kenya, yabadde tasobola kubassa mu kutendekebwa kwa kasammeeme.

MUSEVENI Y’ASUUBIRWA OKUBA OMUGENYI OMUKULU:

Ahmed Hussein, yategeezezza nti baawandiikidde pulezidenti Yoweri Museveni okubaawo ng’omugenyi omukulu ku Ssande kyokka nga tebannaddibwamu wabula minisita w’Ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni yakakasizza okulaba omupiia gwa Comoros.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnamateeka wa Kyagulanyi, Sseggona (wakati) ng’awayaamu n’omuwandiisi wa NUP, , Lubongoya  (ku ddyo) ku kkooti .

Buubuno obukwakkulizo gavum...

GAVUMENTI eyagala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangirire nti tagenda kwetaba mu bikolwa bya kwekalakaasa...

Abantu nga balwana okutaasa ttaanibboyi eyabadde alaalidde mu byuma.

Ensiitaano y'okutaasa ttani...

POLIISI n'abadduukirize kyabatwalidde essaawa 11nnamba okutaasa ttanibboyi Abdu Sserunjogi ebyuma by'emmotoka gwe...

Loodi Meeya Lukwago.

Lukwago anaakolagana atya n...

MUNNAMATEEKA Erias Lukwago 50 asuubirwa okulayizibwa mu wiiki esooka eya June 2021 okutandika ekisanja ekyokusatu...

Kasasiro asuulibwa mu myala ne gizibikira.

15 beesowoddeyo okugonjoola...

ABEESOWODDEYO 15, banaasobola okumalawo ebizibu ebitawaanya abantu ba Kyengera Town Councli ebiremye Abdul Kiyimba?...

Rogers Mulindwa

'Manifesito ya NRM ebyemiza...

ROGERS MULINDWA - OMWOGEZI WA NRM Nsooka okwebaza bannabyamizannyo olw'obuwagizi era njagala okubagumya nti...