TOP

Ekiggwo Ggumbya ekya Bukedde kiri Kyotera

Added 3rd September 2016

ABAMEGGANYI ba Buddu bawaga okumegga ab’amasaza amalala mu mpaka z’Ekiggwo Ggumbya ekya Bukedde Fa Ma ezigenda okuyindira mu kisaawe e Kyotera mu Rakai ku Ssande.

 Abamegganyi ba Kooki nga bawaga.

Abamegganyi ba Kooki nga bawaga.

ABAMEGGANYI ba Buddu bawaga okumegga ab’amasaza amalala mu mpaka z’Ekiggwo Ggumbya ekya Bukedde Fa Ma ezigenda okuyindira mu kisaawe e Kyotera mu Rakai ku Ssande.

Wabula n’aba Kooki babaanukudde nti bajje nga beesibye bbiri kubanga bamaze okusunsula abavubuka envuumuulo abagenda okuwangula buli anaabasala mu maaso.

ABAWAGIZI BEESUNGA

Abawagizi mu masaza agagenda okukuhhaanira ku kisaawe e Kasambya mu Kyotera enkya (Ssande), nabo beesunga era bakira bagamba nti zinaagenda okuwera essaawa bbiri ez’oku makya nga bataka mu kisaawe okubugiriza abamegganyi baabwe.

Amasaza ana ge gali mu kibinja ekigenda okuvuganya okuli; Buddu, Kooki, Kabula ne Mawogola. Pookino, Vincent Mayiga Ssebbowa agambye nti omuzannyo gw’Ekigwo munyuvu ate gwa nnono eri Abaganda n’asiima aba Bukedde abawoma omutwe mu kuguzzaawo.

Yagasseeko nti waakukulemberamu Buddu mu lutabaalo lw’okuwangula amasaza amalala kubanga guno omwaka gwa buwanguzi eri Buddu era beetegese okuwangula Ekigwo olwo bakigatte ku kikopo ky’emupiira gy’Amasaza kye baawangudde omwezi oguwedde.

Yeegattiddwaako abantu abalala, bonna abaaweze nti tebayinza kusubwa Kigwo Ggumbya nga beesunga okulaba enkoona nga zinywegera ettaka.

Buli ssaza liyungudde abasajja enjasabiggu be basuubira okubatuusa ku buwanguzi.

September 18 ekigwo kijja kuba Mityana ku Mityana Grounds Singo, Busujju, Busiro bameggane.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...

Aba bboodabbooda mu kibuga ...

ABAVUZI ba bboodabbooda mu kibuga Masaka ekyakasajjakula okufuuka City balabika amatu baagateekamu ppamba

Omukungu w'enkulaakulana ya...

Omukungu w'enkulaakulana ya Bannakalungu ayoya buyembe buto!..

Dr. Keefa Kamya ng'asabira abantu

'Bakitaffe mutusabire essaa...

BAKITAFFE tusabayo essaala ennafuya bonna abatwesimbyeko baleme kutuggya mugaati mu kamwa nga batuwangudde!!!!Abakulembeze...