
Magogo (ku kkono) ne Geoffrey Massa mu ssanyu.
PULEZIDENTI wa FUFA, Ying. Moses Magogo ategeezezza nti tebagenda mu mpaka z’Afrika kutuusa luwalo.
Ku Ssande, Cranes yakubye Comoros (1-0) ne yeggyako ekikwa ky’emyaka 38 nga tezannya mpaka z’Afrika. Magogo yagambye nti ekyokuyitawo tekimala n'annyonnyola nti ekigendererwa kye kya kulaba nga waakiri tutuuka ku ‘quarter’, Uganda eyingire olukalala lwa ba kirimaanyi mu Afrika.
Bino Magogo yabyogeredde ku Serene Suits e Mutundwe eggulo bwe yabadde asiibula abazannyi n’okubeebaza okutuusa ttiimu mu z’Afrika.
“Kyatukoze bulungi okuyitawo kuba abawagizi baffe babadde bakirindiridde okumala ebbanga, naye tikinnaggwa era njagala eno ebeere ntandikwa y'okwetabanga mu mpaka zino," Magogo bwe yategeezezza.
Yagambye nti ku Lwokusatu agenda kutuula n'olukiiko olufuzi bategekere ttiimu ng'obudde bukyali.
Ssente obukadde 35 bwe yasuubizza abazannyi yagambye nti bagenda kuziteeka ku akawunti zaabwe.