TOP

Mukono Parents yeetisse ekya Cricket

Added 9th September 2016

Mukono Parents yeetisse ekya Cricket

 Abawanguzi ba cacanca

Abawanguzi ba cacanca

Pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Cricket, Justin Ligyalingi atenderezza omutindo gw’omuzannyo ogulinnye mu ggwanga okusinziira mu mpaka z’amasomero ga siniya mu balenzi ezireese kyampiyooni omuggya.

Mukono Patents okuwangula empaka zino omulundi ogusooka nga baddiriddwa Jinja SSS olwo Busoga College Mwiri abaakiwangula omwaka oguwedde ne bakwata kyakusatu.

Kololo SSS abaawangula mu 2014 baamalidde mu kyakuna mu mpaka zino ezeetabiddwamu amasomero 12 agaawangudde empaka za rigyoni ezeetabwamu amasomero 31.

Kololo yaddiriddwa Nyakasura School, Kings College Buddo, Ndejje SSS, Masaka SSS, St.James Jinja SSS, Teso Colllege, Ntare School ne Rainbow International.

Ligyalingi ategeezezza nti bagenda kulangirira ttiimu erondeddwa mu bazannyi bano nga y’egenda okukiikirira eggwanga mu mpaka ez’omukwano ne Kenya nga nabo babadde mu mpaka ze zimu.

Mu mpaka ezaatabuddwa enkuba ku luzannya lwa fayinolo, Mukono Parents yalangiriddwa nti yeyavudde omuzannyi w’omwaka Zephania Arinaitwe ate eyasinze okukuba emipiira ye Rogers Olipa so ng’eyasinze okukasuka ye simon Okecho nga nabo bombi ba Mukono Parents.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...