TOP

Ebya Cranes bibizze lwa bbanja lya micho

Added 10th September 2016

ABAWAGIZI bavuddeyo okutandika okubanjiza ku mutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic omusaala gwe ogw’emyezi omusanvu gy’amaze nga tasasulwa n’ensako endala.

 Micho

Micho

ABAWAGIZI bavuddeyo okutandika okubanjiza ku mutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic omusaala gwe ogw’emyezi omusanvu gy’amaze nga tasasulwa n’ensako endala.

Kino kizzeewo oluvannyuma lw’okukizuula nti ssinga FUFA eremererwa okusasula Micho, Uganda yandigaanibwa okwetaba mu z’Afrika ez’akamalirizo e Gabon n’ez’okusunsulamu abalizannya World Cup ya 2018 e Russia.

Cranes, yayiseewo okuzannya mu z’Afrika omwaka ogujja oluvannyuma lw’emyaka 38, kyokka, Micho eyagiyisizzaawo yaweze okukuba FUFA mu kkooti ssinga temusasula ssaako okwekubira enduulu mu FIFA ne CAF ekiyinza okuviirako Uganda okuwerebwa.

Abawagizi bano bakulembeddwa Robert Kabushenga, akulira kampuni ya Vision Group nga bagamba nti Uganda okugobwa mu mpaka z’emaze emyaka 38 nga tezeetabaamu olwa FUFA obutasasula Micho tebagenda kukikkiriza.

Obutasasula mutendesi, kyagobesezza Zimbabwe mu z’okusunsulamu abalizannya World Cup oluvannyuma lw’omutendesi José Claudinei Georgini okuloopa mu FIFA ng’ekibiina ekitwala omupiira mu Zimbabwe bwe kyagaana okumusasula embeera y’emu eri ku Micho mu Uganda.

Ebimu, Micho by’ayagala FIFA emuyambeko, kwe kuwaliriza Uganda emusasule ng’omwezi guno tegunnaggwaako nti singa guggwaako FIFA ekozese obuyinza esazeemu Uganda mu mpaka nga bw’ekola ku nsi endala.

Embeera eno y’etanudde abawagizi ne batondawo ekiwendo ekituumiddwa: ‘Mujje Tubanje.’

Bakyagaanyi okukwatagana: Wadde nga FUFA yakkirizza nga Micho bw’agibanja, era wakyaliwo enkalu ku bunene bw’ebbanja.

Micho agamba nti abanja emyezi musanvu kyokka yo FUFA egamba nti emanyi emyezi esatu era enoonya ssente ezisasule.

Micho agamba nti FUFA emuyisaamu maaso buli lw’ayogera ku by’okumusasula. “Uganda njaagala nnyo kyokka nneekyaye. Emirundi ebiri (mu June ne August) nga mbawandiikira bansasule kyokka bantunuulira kyamuli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...