TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Palamenti eyingidde mu by'abazannyi obutawangula midaali mu Olympics

Palamenti eyingidde mu by'abazannyi obutawangula midaali mu Olympics

Added 10th September 2016

OLUVANNYUMA lwa Uganda okuva mu mizannyo gya Olympics egyakomekkerezeddwa mu Rio de Janeiro ekya Brazil omwezi oguwedde ng'eyanjala ngalo, palamenti eyingidde mu nsoga zino n'esaba akakiiko akaddukanya emizannyo mu ggwanga aka NCS, n'aka Olympics, (UOC) okunnyonnyola ekyaviiriddeko embeera eno.

 Abaddusi ba Uganda Solomon Mutai (ku ddyo) ne Jackson Kiprop (amuddiridde) nga badduka.

Abaddusi ba Uganda Solomon Mutai (ku ddyo) ne Jackson Kiprop (amuddiridde) nga badduka.

BYA FRED KISEKKA

OLUVANNYUMA lwa Uganda okuva mu mizannyo gya Olympics egyakomekkerezeddwa mu Rio de Janeiro ekya Brazil omwezi oguwedde ng'eyanjala ngalo, palamenti eyingidde mu nsoga zino n'esaba akakiiko akaddukanya emizannyo mu ggwanga aka NCS, n'aka Olympics, (UOC) okunnyonnyola ekyaviiriddeko embeera eno.

Akakiiko ka palamenti ak'ebyenjigiriza n'emizannyo, akakulirwa Conie Nakayenze Galiwango (mukazi/Mbale), kaagambye nti kaagala lipoota ku nsonga eno amangu ddala.

Ababaka; Allan Sewanyana (Makindye West), Joseph Sewungu (Kalungu West), Moses Kasibante (Lubaga North ne Nathan Twesigye (Kashari South) beemulugunyizza ne ku ngeri abaawerekera ttiimu ya Uganda gye baalondebwamu, ne basaba UOC okunnyonnyola engeri omugagga Jackson Pembe gya yatuuka ku lukalala luno.

Sewungu yagambye balina okwetegereza engeri emirimu gya NCS ne UOC gye giddukanyibwamu, Kasibante ne yeewunya okubeera nga ne Kiprotich gwe baali basuubira okumalira mu bifo by'oku mwanjo, okumalira mu ky'e 14 mu misinde gy'okwetooloola ebyalo.

NCS ENNYONNYODDE: Nicholas Muramagi, Ssaabawandiisi wa NCS, yasabye ababaka nti nga tebannatunuulira nsonga ya butawangula mudaali, basooke kunoonyereza ku ngeri ttiimu gye yeetegekamu wamu n'okubeera nti ssente zaali ntono (obukadde 400), are nga zaabatuukako ng'ebula omwezi ogumu empaka zitandike.

Yageraageranyizza ne Bungereza eyateeka obukadde mukaaga obwa Pawundi ku buli muzannyi, ne basobola okugireetera emidaali n'okumalira mu kyokubiri.

UOC EVUDDEYO

Ku Lwokubiri, Pulezidenti wa UOC, William Blick yayanjulidde bannamawulire lipoota mwe yeegattidde ku Muramagi okutegeeza nti ebbula ly'ensimbi n'entegeka ekyabulamu, bye byaviiriddeko Uganda okukola obubi.

" Bwe tunaaba tetwongedde ku nsimbi ze tuteeka mu byamizannyo, tukyayongera okukaaba olw'ebbula ly'emidaali" Blick bwe yagambye.

Yagasseeko nti Uganda erina okumaliriza ekisaawe kya 'High Altitude'ekizimbibwa e Kapchorwa, okuteekawo giimu ezitendeka ebikonde, n'ebirala biyambe abazannyi mu kutendekebwa nga Olympics addako e Japan mu 2020, tannatuuka.

ABAAWANGULA MU COMMONWEALTH BALAAJANA

Bino webijjidde ng'abaawangula emidaali mu mizannyo gya Commonwealth egyali mu Glasgow ekya Scotland mu 2014, ne mu mizannyo gya Afrika baagala NCS ebannyonnyole lwaki tebannateekebwa ku lukalala lwa bannabyamizannyo abalina okufuna omusaala okuva mu ofiisi y'obwapulezidenti.

Mu 2012, oluvannyuma lwa Kiprotich okuwangulira Uganda zaabu mu mizannyo gya Olympics e London, Pulezidenti Museveni yalagira nti buli awangula omudaali gwa zaabu waakuweebwanga 5,000,000/-, feeza 3,000,000/- n'ogwekikomo 2,000,000/- buli mwezi, zibayambe okwekuumira ku mutindo nga batendekebwa okwetegekera empaka ez'enjawulo.

Ensimbi zaali zaakuweebwa abawangudde emidaali mu Olympics, Commonwealth n'emizannyo gya Afrika.

Abeebikonde abaawangula emidaali gy'ekikomo mu Commnwealth e Scotland kuliko; Mike Ssekabembe (Heavy) ne Fazil Kaggwa Juma (Fly), sso nga Kennedy Katende (Light heavy) naye yawangula omudaali gwe gumu mu mizannyo gya Afrika egyali e Congo Brazaville mu 2015. "Tetufiiriddwaako nga bannaffe abeemisinde.

Tulondodde ensonga wabula tulemeddwa," Ssekabembe bwe yategezezza. N'omutendesi wa Bombers, Sam Rukundo eyagenze n'abazannyi e Brazil, yeemulugunyizza nti abeebikonde tebafiibwako n'agattako nti baasazeewo okwetuukira ewa minisita w'ebyemizannyo, Charles Bakkabulindi nga bamusaba okutuula mu nsonga eziviiriddeko omutindo gw'ebikonde okugwa.

NCS EBAANUKUDDE

Amyuka ssaabawandiisi wa NCS, David Katende yagambye nti baasaba abantu bano okukkaanya n'ekibiina kya UBF ekibatwala kiweereze amannya bagongereyo, kyokka kikyabalemye.

Kenneth Gimugu Pulezidenti wa UBF yagambye nti ensonga zino bazikolako nasaba abazannyi okubeera abagumiikiriza.

SSENTE TEZIKYATUUKA

Omuddusi Annet Nakayi eyawangula emidaali gya zaabu ebiri mu Commonwealth w'abato e Bungereza mu 2012 , yagambye nti y'omu ku bafuna ssente zino wabula nga yakoma okuzikwatako mu November w'omwaka oguwedde.

Wabula Pulezidenti w'emisinde Dominic Otuchet yagambye nti okubeera ku lukalala luno si kya nkalakkalira nagamba nti batunuulira n'omutindo gw'omuddusi mu myaka egiddirira mu mpaka eziri ku mutendera gw'ensi yonna.

OFIISI YA PULEZIDENTI EYOGEDDE

Omuwandiisi wa Pulezidenti akola ku byemizannyo, Norah Nassimbwa, agamba nti abaddusi abali ku lukalala basasulwa era ssente zissibwa butereevu ku akawunti zaabwe.

" Basasulwa okusinziira ku bajeti ya Pulezidenti bw'eba eyimiridde," Nassimbwa bwe yannyonnyodde n'agamba nti bwe ziba teziriiwo omwezi ogwo tebazifuna, kyokka wonna weziggyira zibaweerezebwa.

Ebirala biking'aanyiziddwa SILVANO KIBUUKA NE KIZITO MUSOKE

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...