TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dayirekita w'essomero aliira ku nsiko lwa kukuma mu bayizi muliro ne bakuba abapoliisi amayinja

Dayirekita w'essomero aliira ku nsiko lwa kukuma mu bayizi muliro ne bakuba abapoliisi amayinja

Added 24th September 2016

POLIISI y’e Lyantonde etandise okuyigga dayirekita w’essomero lya Ronald Ruta P/S erisangibwa mu kibuga ky’e Lyantonde lwa kukuma muliro mu bayizi n’abalagira bakube bawannyondo ba kkooti n’abasirikaleba Poliisi amayinja abaabadde bagenze ku ssomero lino okugonjoola enkaayana z’ettaka.

Abaserikale ne bawannyondo ba kkooti nga balawuna ku ssomero lya Ronald Ruta P/S. Mu katono ye Ronald Ruta nnyini lyo

Abaserikale ne bawannyondo ba kkooti nga balawuna ku ssomero lya Ronald Ruta P/S. Mu katono ye Ronald Ruta nnyini lyo

Bya FLORENCE TUMUPENDE, LYANTONDE.

POLIISI y’e Lyantonde etandise okuyigga dayirekita w’essomero lya Ronald Ruta P/S erisangibwa mu kibuga ky’e Lyantonde lwa kukuma muliro mu bayizi n’abalagira bakube bawannyondo ba kkooti n’abasirikaleba Poliisi amayinja abaabadde bagenze ku ssomero lino okugonjoola enkaayana z’ettaka.

Kigambibwa nti Ronald Kansabe, nnannyini ssomero lino yaguza omugagga Paddy Kabuye ettaka eriweza yiika nnya (4) okuli ebizimbe n’ebizimbe by’essomero kyokka ng’apapunta bwe baapimye ettaka ng’ekyapa kiraga nti yamuguza kitundu kya yiika.

Kino kyatabudde omugagga Kabuye n’agwawo ekigwo n’aziraka n’atwalibwa mu mmotoka okubudaabudibwa.

Akulira poliisi y’e Lyantonde, Oyo Thomas  yalabiddwako ng’alagira abayizi ababadde basoma ‘holiday’ okwamuka  essomero lino mu ssaawa emu yokka okutuusa ng’olusoma lwa ttaamu eyookubiri luzzeemu.

Yadde nga waliwo abayizi poliisi be yakutte nga bakuba amayinja, bawannyondo ba kkooti okuva e Kampala baasabye poliisi obutabasiba wabula bayigge dayirekita  w’essomero lino eyabakumyemu omuliro  avunaanibwe.

Omugagga Kabuye olwazze engulu n’awera okutwala dayirekita Kansabe mu kkooti amugguleko omusango gw’okumufera n’amuguza ettaka ly’empewo.

Bo abazadde abaliraanye essomero bino olwabagudde mu matu emitima ne gibeewanika nga nga bagamba nti ebiriwo byonna biraga essomero ligenda kuggalwa.

Bino byabaddewo akawungeezi k’olweggulo ku Lwokutaano era n’okutuusa kati essomero likyali mu mikono gya poliisi okutuusa ng’embeere ezze mu nteeko.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...

Omugagga Hamis Kiggundu ng'annyonnyola

Omugagga Ham azzeemu okuttu...

OMUGAGGA Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham agonzezza banka n'ekkiriza okuggyawo omutemwa gw'okusooka okusasula...