TOP

Erinnya limugobezza mu mpaka

Added 27th September 2016

DDIIFIRI Tom Kasumba, yagobye omuzannyi mu z’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka za Nile Special Pool Championship ez’akamalirizo lwa kukozesa linnya litali lirye.

 Ssaalongo Uthuman Bukenya owa Kiraabu ya Samona ng'akuba emipiira e Mityana.

Ssaalongo Uthuman Bukenya owa Kiraabu ya Samona ng'akuba emipiira e Mityana.

DDIIFIRI Tom Kasumba, yagobye omuzannyi mu z’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka za Nile Special Pool Championship ez’akamalirizo lwa kukozesa linnya litali lirye.

Wycliff Luutu, ye yagobeddwa oluvannyuma lw'okukozesa erinnya lya Kamu Ssali eyatuuse ekikeerezi n'agaanibwa okwetaba mu mpaka.

Kasumba, yagambye nti Luutu agenda kutwalibwa mu kakiiko akakwasisa empisa mu kibiina ekifuga omuzannyo gwa Pool kubanga kye yakoze kikontana n'amateeka ekiyinza okumuweza okumala emyaka ebiri.

Empaka zino zaawanguddwa Ssaalongo Uthuman Bukenya owa Samona bwe yakubye munnamagye Salim Akankwasa ng'ono azannyira kiraabu ya Scrap Buyers, ku bugoba (4-1).

Bukenya ne Akankwasa beegattiddwaako Hamza Matovu (eyakutte ekyokusatu) okugenda mu z'akamalirizo eziribeera e Lugogo ku nkomerero y'omwezi ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...