
Racheal Nanyonga (akutte omupiira) ne banne mu kutendekebwa e Nakivubo.
OMUTENDESI wa She Cranes, ttiimu y'eggwanga ey'okubaka, Rashid Mubiru, agambye nti eky'okutandika okutendekebwa ekikeerezi tekijja kubalemesa kwolesa mutindo mulungi mu mpaka za Diamond Challenge e South Africa.
Zitandika nga October 2, nga zaakumala ennaku ssatu mu kibuga Durban mu kifo ekiyitibwa Wesville Campus.
Empaka zigenda kwetabwamu ttiimu nnya ng'abategesi baakuzannyisa ttiimu bbiri beegattibweko Uganda ne Zimbabwe ng'abagenyi.
"Wadde tugenda kutendekebwa wiiki emu yokka, hhenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga tukozesa bulungi akabanga kano okutuusa abazannyi ku mutindo gwe njagala,” Mubiru bwe yategeezezza.
Maneja wa ttiimu, Jocylene Uchanda yagambye nti basuubira okusitula ku Lwokutaano n’abazannyi 12.