TOP

Siganzanga ku muwala - Emong

Added 1st October 2016

DAVID EMONG yalemala omukono ogwa kkono.Ye Munnayuganda asoose okuwangula omudaali mu mizannyo gya Olympics egy'abaliko obulemu ku mibiri.Yawangudde ffeeza mu mmita 1,500 e Rio de Janeiro mu Brazil. Yawayizzaamu ne FRED KISEKKA;

DAVID EMONG yalemala omukono ogwa kkono.Ye Munnayuganda asoose okuwangula omudaali mu mizannyo gya Olympics egy'abaliko obulemu ku mibiri.Yawangudde ffeeza mu mmita 1,500 e Rio de Janeiro mu Brazil. Yawayizzaamu ne FRED KISEKKA;

ABANTU bangi baba ne ttalanta z'emizannyoo ne ziseebengerera lwa kwegadanga na bakazi. Okwegatta ennyo n'abakazi kivaako omutindo gw'abazannyi okukka.

Mikwano gyange ginjerega nti siyaka olw'okuba eby'abakazi sibigenderako naye si kituufu.

Ndi mulamu nnyo mu mbeera zaffe ez'ekisajja naye ekiseera ky'okuganza oba okuwasa omukazi tekinnatuuka.

Ku myaka 26 gye nnaakamala ku nsi, mubaddemu ebikemo bingi naye Katonda ansobozesezza okubivvuunuka.

Bukya mbeera ku nsi siganzanga ku muwala nga kino nkituuseeko lwa kubuulirira kwa kitange Okello kubanga ye Paasita, ow'ekkanisa ya Victory e Lowro mu disitulikiti y'e Amolatar.

Ekirala ekinnyambye obuteesembereza bakyala, sirina mukutu gya mpuliziganya na bantu (social media) gwe ndiko. Siri ku Facebook wadde Whats App.

NALEMALA NKUZE

Nazaalibwa ndi mulamu naye 'pulifekiti' yammenya omukono ng'ambonereza olw'okulemwa okuleeta enku ezaali zitutumiddwa.

Kino kyaliwo mu 1998 nga ndi mu P.3 era simanyi bulamu bwange bwe bwandifaananye singa ssaafuna bulemu buno.

Famire yange yali nnyo mu mupiira olwa kojja Dennis Obua era nasooka kulowooza nti ndigusamba nga nkuze kyokka naguddukamu nga sigumanyi.

Bwe natuuka mu P.4, nneegomba abaddusi Boniface Kiprop ne Moses Kipsiro era okuva olwo siddanga mabega.

EMONG Y'ANI?

  • Nazaalibwa mu 1990 mu maka ga Abraham Tom Okello ne Fredah Amuri, mwannyina w'omugenzi Denis Obua, eyaliko pulezidenti wa FUFA.
  • Bazadde bange babeera Abong mu Lowro mu disitulikiti y'e Amolatar. Wabula Lilly Ajok, muggya wa mmange, y'ankuzizza oluvannyuma lwa mmange (Fredah Amuri) okufa nga ndi muto.
  • Baganda bange ye Michael Ora, Bonny Odur, Emmanuel Emong, Dorine Auma ne Judith Anu.
  • Nasomera Awero Primary, Gombe SS ne Kampala University gye nafunidde diguli mu 'Industrial Art & Design'.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...