
Ivan Kanyasigye eyawangulwa ku fayinolo ya 2014 . (ekif: Silvano Kibuuka)
Ensitaano ya Pool mu mpaka za Nile Special National Open Pool Championships ku luzannya lwa 'Region' yaakuyindira mu Kampala, Tororo ne Jinja abazannyi ab’amanya bangi mwe boolekedde okuwandukira.
Ku Rock Catalina e Ntinda abazannyi ab’amannya 13 be bali mu nsiike nga mwe muli Ezra Kaggwa eyasinga okuteeba mu liigi wamu ne kiggala, William Kanyesigye eyawangulwa Fahad Sewankambo ku fayinolo ya 2014.
Abalala ye Abubaker Nakabaale ne Simon Kampuruzaare nga bonna bazannyi ab’amannya mu liigi.
Mu Kampala enzannya za 'Region' ziri Nalukolongo ku Orange Club ne Rock Catalina e Ntinda ate nga e Jinja ziri ku Queens Palace so nga e Tororo bali ku Alpha Pub.
Abazannyi 15 be batunuuliddwa okwesogga fayinolo ya 2016 Nile Special Open Pool Championship ezizannyibwa nga 22 omwezi guno e Lugogo mu MTN Indoor Arena.