TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Neville eyaliko kapiteeni wa ManU ajereze entandeka ya Mourinho

Neville eyaliko kapiteeni wa ManU ajereze entandeka ya Mourinho

Added 19th October 2016

GARY Neville, eyaliko kapiteeni wa ManU, agambye nti ttiimu eno bw'eneengenda mu maaso n'enzannya gye yayolesezza ng'egwa amaliri (0-0) ne Liverpool ku Mmande ekikopo kya Premier ekyerabire.

GARY Neville, eyaliko kapiteeni wa ManU, agambye nti ttiimu eno bw'eneengenda mu maaso n'enzannya gye yayolesezza ng'egwa amaliri (0-0) ne Liverpool ku Mmande ekikopo kya Premier ekyerabire.

Ensiike ya ManU ne Liverpool ze zimu ku zeesungibwa ennyo e Bungereza olw'okubiisanya okubaamu, kyokka guno gwalese abalabi baayuuya abamu nga tebata kutunula ku ssaawa zaabwe, nga balinga abasabirira guggwe mangu.

"Tebasobola na kuzzaayo mupiira mu bwangu (counterattack) ku ggoolo y'omulabe!" Neville bwe yeewuunyizza.

Kyokka Mourinho eyataddeyo bbaasi, yagambye nti tafa ku bavumirira bukodyo bwe, kuba yavuddeyo nga musanyufu okufuna akabonero wamu n'okukkakkanya Liverpool buli omu gye yabadde ayimbirira okubeera ku ffoomu.

" Liverpool babaddenga bagiwaana naye sirina kye ndabyemu," Mourinho bwe yakangazizza. ManU, eyakubye ennyanda emu ku tagyeti, eri mu kyamusanvu n'obubonero 14, ate Liverpool eri mu kyakuna (17).

Omutendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp yagambye nti wadde omukwasi wa ggoolo ya ManU, David de Gea yataasizza ennyanda ezimu, ttiimu ye teyazannye nga bwe yabadde asuubira. "

Twatandise bulungi naye enzibira ya ManU eya muntu ku muntu yatulemesezza," Klopp bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC ng'ayogera eri abantu.

Ab'e Bukomansimbi mwewale e...

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Yahaya Kakooza alabudde abantu b'e Bukomansimbi obutetantala...

Isma yeetondedde Full Figur...

Isma abeera ku mikutu gya sosolo midiya ng'ayogerera banne amafuukule kyaddaaki yeetondedde Full Figure gwe yavuma...

Isma atabukidde Bajjo olw'o...

Isma atera okubeera ku mikutu gya sosolo midiya egy'enjawulo ng'avuma abantu n'okuboogerera ebikankana atabukidde...

Minisita ng'ayogera eri abasuubuzi.

Okulonda abakulembeze b'aka...

Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde...

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

'Pulezidenti tuyambe ku mug...

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde...