TOP

Fayinolo y'ekigwo Ggumbya eyengedde

Added 26th October 2016

Fayinolo z'ekigwo ggumbya ekitegekebwa Bukedde Ffa Mma Embuutikizi (100.5, 106.8 ne 96.6) zizannyibwa ku Ssande (October 30), era abamegganyi 10 beeswanta okuziwangula.

Ab'e Mawokota nga beetegekera fayinolo y'ekigwo Ggumbya. EKIF: PADDY BUKENYA

Ab'e Mawokota nga beetegekera fayinolo y'ekigwo Ggumbya. EKIF: PADDY BUKENYA

Fayinolo z'ekigwo ggumbya ekitegekebwa Bukedde Ffa Mma Embuutikizi (100.5, 106.8 ne 96.6) zizannyibwa ku Ssande (October 30), era abamegganyi 10 beeswanta okuziwangula.

Abamegganyi okuva mu ssaza ly'e Mawokota bayingidde enkambi era nga bawera kusitukira mu mpaka za mulundi guno.

Fayinolo yatongozeddwa wiiki ewedde ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area. Akulira okutegeka ebivvulu mu kkampuni eno, Joweria Nabuuma ne Herbert Kabanda maneja wa Bukedde Ffa Mma, bategeezezza nti enteekateeka zonna ziwedde, nga balinze lunaku lwokka okulaga bye bazze bafumba okumala ebbanga.

Olulwana olusooka lwakubeerawo ku makya ku ssaawa 3. Omuwanguzi waakusitukira mu kyapa ekyassibwawo Kamoga Property Consultants wamu ne 1,000,000/- ezassibwawo aba Prestige Margarine.

Ebirabo ebirala bivudde mu Haris International, abakola Rock Boom, Ngule ne Kapale Diapers. David Lutalo, Dax Kartel n'abalala be bamu ku bayimbi abagenda okusanyusa abawagizi ku lunaku olwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....