TOP

FUFA esiimye Onyango n'ekyapa ky'ettaka

Added 26th October 2016

FUFA esiimye Onyango n'ekyapa ky'ettaka

 Denis Onyango

Denis Onyango

FUFA egulidde Denis Onyango ekyapa ky’ettaka okumwebaza okubeera munnayuganda asoose okufuna omudaali gwa zaabu ku lukalu lwa Africa mu mupiira.

Ying Moses Magogo agambye nti ekyapa kino kyakumukwasibwa nga November 12 e Namboole nga Cranes ekyazizza Congo Brazzaville wabula nga tayogedde bunene bwakyo wadde ekitundu we baguze poloti eyo.

“Twagala okukakasa bannayuganda nti naddala abasamba omupiira nti bajja kusiimibwa era eno ntandikwa,” Magogo bw’ategeezezza.

Ttiimu ya Onyango eya Mamelodi Sundown yawangudde ekikopo kya kiraabu empanguzi ku lukalu lwa Africa ekya Champions League nga yakubye Zamalek eya Misiri ggoolo 3-1 okutwala ekikopo kya Africa Champions League.

Mu kiseera kye kimu, FUFA erangiridde abazannyi 12 abagenda okutandika okusuumusibwa n’okubangulwa okuyiga enzirukanya ya FUFA mu kaweefube w’okutumbula omupiira nga guddukanyizibwa abaali bagusaambyeko.

Bano baakakasiriziddwa mu ttabamuruka wa FUFA eyabadde e Luwero.

Abasambi abakyasamba ye Hassan Wasswa (Vipers) ne Joseph Ochaya (KCCA).

Abaawummula ye Simeon Masaba, Ali Kitenda, Lawrence Kizito, Ali Kayongo, Phillip Ssozi, Hakim Magumba, Sadiq Wassa, Hassan Mubiru, Fred Tamale ne Sam Kawalya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...