TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abayizi ba Honey Suckle e Lukuli basindanye mu mpaka z'emizannyo

Abayizi ba Honey Suckle e Lukuli basindanye mu mpaka z'emizannyo

Added 31st October 2016

ABAYIZI b'essomero lya Honey Suckle e Lukuli - Makindye beetabye mu mizannyo egy'enjawulo ku kisaawe ky'ettendekero lya Buziga Islamic Institute e Buziga.

 Abayizi nga basindana mu mpaka z'okukwasa mumwa emmere. EBIF: SAMSON SEMAKADDE

Abayizi nga basindana mu mpaka z'okukwasa mumwa emmere. EBIF: SAMSON SEMAKADDE

Bya SAMSON SSEMAKADDE 

ABAYIZI b'essomero lya Honey Suckle e Lukuli - Makindye beetabye mu mizannyo egy'enjawulo ku kisaawe ky'ettendekero lya Buziga Islamic Institute e Buziga.

Abayizi nga basindana mu kuvuga obugaali

Baasindanye mu mizannyo omuli; okuddukira mu kkutiya, okuvuga obugaali, okwabya baluuni ng'ogituddeko, okutambuza eby'okulya ng'okozesa omumwa n'emirala.

Emizannyo gyawanguddwa ennyumba ya Elephant (Red), eyasitukidde mu kikopo n'obubonero 200, n'eddirirwa Lion (Yellow) 197 olwo Zebra (Orange) n'emaliriza na 194.

Omubaka Allan Ssewannyana ng'akwasa ennyumba empanguzi ekikopo

 

Allan Ssewanyana, omubaka wa Makindye West mu Palamenti ye yabadde omugenyi omukulu.

Ssewannyana yasabye abazadde obutalekerera baana naddala mu by'emizannyo kibayambe okusitula omutindo gw'ebitone bye balina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...

Omugagga Katumwa

Omugagga Katumwa ayimbuddwa...

OMUGAGGA David Katumwa ayimbuddwa n’ayogera b’agamba nti bebali emabega w’okumusibisa. Katumwa okuyimbulwa baamuggye...