TOP

Nkuba ne Prison Bawangudde eza Injector Plan

Added 31st October 2016

Nkuba ne Prison Bawangudde eza Injector Plan

Ebivudde mu mpaka za Injectaplan mu Kubaka:

Kiraabu:

Walukuba NT 12  Prisons Uganda 34

Amatendekero aga waggulu:

Nkumba University 24 UCU Mbale 13

Ttiimu y’okubaka eya Uganda Prisons ne Nkumba Yunvasite ze ziwangudde empaka ezassibwawo ekitongole kya Injectaplan ekibunyisa enjiri y’okwettanira ekizaalaggumba n’okusengeka abaana abazaalibwa nga fayinolo zibadde Namboole ku kisaawe kya Mandela National Sports Complex.

Mu mpaka zino ezisookedde ddala, Prisons tesanze buzibu okuwangula ng’empaka zino eza Inter Region Injectaplan zeetabiddwamu rigyoni nnya okuli Northern, Western, Eastern ne Central nga buli emu yasooka kutegeka za kuvuganya mu mitendera gyombi nga ttiimu eyawangula mu buli rigyoni ye yazze e Namboole ku fayinolo.

Akulira ekibiina kya Uganda Netball Federation , Susan Onek nga be babadde baddukanya empaka zino wamu n’ekitongole kya Injectaplan ategeezezza nti empaka zibayambe okuwa abazannyi okuvuganya era zongedde okusitula omutindo kubanga zizannyiddwa mu ggwanga lyonna.

Ttiimu eziwangudde zikwasiddwa ebikopo n’emidaali omukungu wa Injectaplan Denis Ahairwe n’ategeeza nti zaakuzannyibwa n’omwaka ogujja era nga basuubira okuzibunyisa nemu mawanga ag’omuliraano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...

Omugagga Katumwa

Omugagga Katumwa ayimbuddwa...

OMUGAGGA David Katumwa ayimbuddwa n’ayogera b’agamba nti bebali emabega w’okumusibisa. Katumwa okuyimbulwa baamuggye...