TOP
  • Home
  • Ebyobusubuzi
  • Akulira eby'amawulire mu IAAF asiimye enteekateeka y'okukwatamu emisinde gya IAAF omwaka ogujja

Akulira eby'amawulire mu IAAF asiimye enteekateeka y'okukwatamu emisinde gya IAAF omwaka ogujja

Added 15th November 2016

Akulira eby'amawulire mu IAAF asiimye enteekateeka y'okukwatamu emisinde gya IAAF omwaka ogujja

 Abam ku bannamawulire abasaka ag'ebyemizannyo nga bali ne  Anna Legnani akulire eby'amawulire mu IAAF ku kisaawe e Kololo

Abam ku bannamawulire abasaka ag'ebyemizannyo nga bali ne Anna Legnani akulire eby'amawulire mu IAAF ku kisaawe e Kololo

UGANDA nga yeetegekera okukyaza ensi mu mpaka z’emisinde gya IAAF World Cross Country ez’omulundi ogwa 42 omwaka ogujja, omukungu okuva mu kibiina ky’ensi yonna  eky’e misinde ng’ono y’avunaanyizibwa ku Baamawulire  mu mpaka zino, Anna Legnani asiimye entegeka eteereddwawo okulaba nti abaamawulire bakola bulungi emirimu gyabwe nga bazze mu mpaka zino omwaka ogujja.

Legnani eyatuuse mu ggwanga ekiro ekyakeesezza Olwokubiri  ali ku mirimu emitongole okulaba ng’ayambako ekibiina ky’emisinde mu ggwanga okusobola okutegekera  bannamawulire  abanaakola mu mpaka zino ezinaabawo nga March 26, 2017 mu kisaawe e Kololo.

Ku Lwokubiri yalambudde ekisaawe e Kololo awagenda okubeera emisinde gino  era n’ategeeza nga buli kimu bwe kitambula obulungi ng’obuntu butonotono obwetaaga okukyusa okusobozesa abaamawulire okukola emirimu gyaabwe obulungi.


Ono ye mukungu  owookusatu okuva mu IAAF ng’ajja okwetegereza enteekateeka bwe zitambula ng’abaasooka baali baakakiiko ak’ekikugu n’owakanoonya okutunda empaka.
   
Mu ngeri y’emu ttiimu eyayitibwa mu nkambi okwetegekera empaka zino Uganda z’etegese, yatandise eggulo okutendekebwa ng’abazannyi 39 be baayitibwa era baakusunsulwamu mu January ku mpaka z’eggwanga ezinaayindira mu kisaawe e Kololo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...