TOP

Aba Vipers SC batokota Bobby Williamson

Added 6th December 2016

EYALIKO omutendesi wa Cranes, Bobby Williamson y’atunuuliddwa okutwala omulimu gwa Vipers SC oluvannyuma lw’okugoba Abdallah Mubiru.

EYALIKO omutendesi wa Cranes, Bobby Williamson y’atunuuliddwa okutwala omulimu gwa Vipers SC oluvannyuma lw’okugoba Abdallah Mubiru.

Ku Ssande, Lawrence Mulindwa, nnannyini Vipers, yagobye Mubiru n’abamyuka be George Nsimbe ne John ‘Ayala’ Luyinda oluvannyuma lw’okukubwa SC Villa ggoolo 2-1 mu liigi n’abasikiza Richard Wasswa ng’omutendesi ow’ekiseera.

Mulindwa yategeezezza nti Wasswa waakutendekayo emipiira ebiri gyokka oluvannyuma alangirire omutendesi ow’enkalakkalira.

Ensonda mu maka ga ttiimu eno e Kitende, zaategeezezza nga Mulindwa bw’ali mu nteeseganya ez’amaanyi ne Bobby, gwe yawa omulimu mu Cranes ng’akyali pulezidenti wa FUFA mu 2008.

Bobby bwe yagobwa mu 2013, yakansibwa Gor Mahia n’agiwangulira ekikopo kya liigi ya Kenya kyokka mu kiseera kino talina mulimu.

Ku ntandikwa ya sizoni eno, Mulindwa bwe yali alangirira Mubiru, yategeeza nga bw’ayagala ttiimu ye evuganye ku bikopo by’Afrika kuba agitaddemu ssente nnyingi ate n’abazannyi b’alina balungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...