TOP

Uganda erondeddwa okutegeka empaka za Afrika ez'okubaka

Added 7th December 2016

Uganda y’erondeddwa okutegeka empaka z’okubaka ez’amawanga ga Africa omwaka ogujja.

 Omukungu okuva mu kibiina kya International Netball Federation Joan Smit ng'atongoza Uganda okutegeka empaka za Africa Chamopinshios mu 2017. Abadde Lugogo n'abakungu ba NCS David katende (ku kkono) ne  Anet Aryek akulira ekibiina kya Uganda Netball Federation Dec 7 2-16. (ekif: Silvano Kibuuka)

Omukungu okuva mu kibiina kya International Netball Federation Joan Smit ng'atongoza Uganda okutegeka empaka za Africa Chamopinshios mu 2017. Abadde Lugogo n'abakungu ba NCS David katende (ku kkono) ne Anet Aryek akulira ekibiina kya Uganda Netball Federation Dec 7 2-16. (ekif: Silvano Kibuuka)

Uganda y’erondeddwa okutegeka empaka z’okubaka ez’amawanga ga Africa omwaka ogujja.

Ekibiina kya International Netball Federation kikakasizza bino ng’empaka zaakubeera mu Kampala nga June 22-27.

Omukungu w’ekibiina kino, Joan Smit y’ategeezezza bwati oluvanyuma lw’enteseganya n’abakungu ba Uganda abatali bamu okuli aba minsitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo, aba Uganda Netball Federation n’abalala ku kutegeka empaka zino.

Smit asiimye Uganda n’agamba nti emu ku nkizo gy’erina ku mawanga amalala mu nsi yonna y’engeri gy’egabiramu abagenyi viza mu bwangu ku yintaneti.

Agambye nti era okutumbula omutindo gwa Netball mu ggwanga aba INF bagenda kuwa Uganda omusomo gw’eddaala erya waggulu okubangula abatendesi.

Omukungu ono era akyalidde kkampuni ya New Vision okusiima olw’akatabo akakwata ku Netball ke baafulumya nga kawaana ttiimu ya Uganda n’okulaga olugendo lwa Uganda lwe yayitamu okutuuka okugenda mu mpaka za World Cup mu Australia omwaka oguwedde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...