TOP

Abavubuka mulina okubeera abavumu - Minisita Kivejinja

Added 15th December 2016

OMUMYUKA wa Katikkiro wa Uganda owookubiri era minisita w’ensonga z’amawanga g’Obuvanjuba bwa Afrika, Ali Kirunda Kivejinja asabye Bannayuganda okukozesanga akatono ke balina n’okwongera amaanyi mu nkolagana yaffe n’amawanga agatuliraanye kiyambe mu kukyusa obulamu bwabwe.

 Kivejinja (wakati) ng’akwasa omu ku baavuze obugaali ekirabo.

Kivejinja (wakati) ng’akwasa omu ku baavuze obugaali ekirabo.

OMUMYUKA wa Katikkiro wa Uganda owookubiri era minisita w’ensonga z’amawanga g’Obuvanjuba bwa Afrika, Ali Kirunda Kivejinja asabye Bannayuganda okukozesanga akatono ke balina n’okwongera amaanyi mu nkolagana yaffe n’amawanga agatuliraanye kiyambe mu kukyusa obulamu bwabwe.

Yabyogeredde ku wooteeri ya Fairway mu Kampala gye yabadde omugenyi omukulu ku kabaga k’okukulisaayo abavuzi b’obugaali akaategekeddwa ekibiina kya Campfire Logs Guild.

Bano baavuze obugaali obwatolontose ensi 5 eziri mu mukago gwa East Afrika nga bwatuumiddwa Tour de EAC 2016 n’ekigendererwa ky’okumanyisa abantu amakulu agali mu kukolaganira awamu n’okwegattira awamu Afrika.

Kivejinja yasiimye abavubuka olw’okulaga obuvumu ssaako okuweesa Uganda ekitiibwa n’abagamba nti balina okulabira ku buvumu bwa Pulezidenti Museveni eyatandika olutalo olwanunula Uganda n’abantu 26 n’emmundu 27 n’aluwangula.

Yabasabye ku kusoma kwabwe bongereko okulima emmere n’ebibala ebisobola okuvaamu ssente kubanga akatale weekali.

Dayirekita wa Campfire Logs Guild, Johnbosco Balongo yagambye nti olugendo lwe baavuze terwabadde lwangu naddala nga bamaze okuva mu Uganda kyokka olw’obuvumu baamalako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...