TOP

Ssente zitabudde aba FMU

Added 16th December 2016

OLUVANNYUMA lwa pulezidenti w’ekibiina ekitwala omuzannyo gw’emmotoka ne ddigi z’empaka ekya FMU okuwakanya ensimbi ezigenda okusoloozebwa mu mpaka za SMC Sprint Championship, abaazitegese bagamba nti si beetegefu kuzikendeeza.

 Dusman Okee Pulezidenti wa FMU

Dusman Okee Pulezidenti wa FMU

OLUVANNYUMA lwa pulezidenti w’ekibiina ekitwala omuzannyo gw’emmotoka ne ddigi z’empaka ekya FMU okuwakanya ensimbi ezigenda okusoloozebwa mu mpaka za SMC Sprint Championship, abaazitegese bagamba nti si beetegefu kuzikendeeza.

Empaka zaakubaawo nga December 26, ng’aba Southern Motor Club be bazitegese.

Abawagizi abanajja okulaba empaka zino baakusasula 20,000/- wabula okusinziira ku bbaluwa Dusman Okee, pulezidenti wa FMU gye yabaweerezza ku Mmande, yalagidde kiraabu eno okusala emiwendo gidde ku 10,000/-, abawagizi kwe batera okuyingirira nga bwe banaagaana, waakugaana abavuzi okuzeetabamu.

“Kuno kubeera kunyigiriza bawagizi abazze batambula naffe mu bitundu eby’enjawulo. Singa SMC tesala ku miwendo tugenda kukugira abavuzi abeewandiisa ne FMU okuzeetabamu,” Okee bwe yagambye mu bbaluwa gye yawandiise.

Goerge Ssemakula, omu kubategesi, agamba nti baakozesezza ssente nnyingi okutegeka empaka zino ate nga FMU baagiwa dda omutemwa gw’esaba ng’okusala ku ssente z’oku mulyango, tekijja kusoboka.

Abavuzi baakuvuganyiza ku buwanvu bwa kiromita 3 ng’empaka zino ze zigenda okuggalawo engule y’empaka ez’akafubutuko ekulembeddwa Ronald Ssebuguzi n’obubonero 56.3 ng’addiriddwa Duncan Mubiru ‘Kikankane’ ku bubonero 43.8 ne Jas Mangat ku 36.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...