
Micho ng'ali n'abamu ku bazannyi ba Cranes mu mupiira gwa Uganda ne Kenya ogw'omukwano ogwali e Namboole gye buvuddeko. EKIF: MPALANYI SSENTONGO
OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevic awewedde omutima oluvannyuma lw’abazannyi be okukeberebwa ne watabaawo asangibwa ng’akozesa ebiragalalagala.
Ku Lwokuna n’eggulo ku Lwokutaano, abazannyi ba Cranes baatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okukeberebwa abakugu okuva mu CAF oba mulimu akozesa ebiragalalagala kyokka amawulire agaavuddeyo gaawadde Micho akamwenyumwenyu ku matama bwe kyategeezeddwa nti bonna bali bulungi.
Amateeka g’omupiira gakugira omuzannyi yenna azuulibwa ng’akozesa ebiragalalagala okuzannya omupiira, CAF kye yava esalawo okukebera abazannyi bonna abaneetaba mu z’Afrika okusooka bakeberebwe ng’empaka tezinnatandika. Kino kyawewudde Micho omutima n’agamba nti kirungi okubeera n’abazannyi be bonna mu mpaka ezigenda okutandika nga January 14 e Gabon.
Abazannyi baabakebedde n’akawuka ka siriimu kuba abalwadde nabo CAF yabagaana mu mpaka. Gye buvuddeko, Micho yalabula abazannyi okwewala okukozesa ebiragalalagala kuba gwe banaakwata ng’abikozesa tajja kukoma kuswala wabula ajja kuba aswazizza n’eggwanga lyonna.
Hassan Wasswa, omu ku baakebereddwa yategeezezza nti, “Nze nagenze nkimanyi nti tewali muzannyi ayinza kusangibwamu biragalalagala kuba mu ttiimu temuli abikozesa. Abazannyi abagenzeeko ku pulo bakimanyi nti kiba kizibu nnyo okukebera omuntu n’agwa kuba tuba tukyetegekedde,” Wasswa bwe yategeezezza.
Ku Lwokuna, Hassan Wasswa, Nicholas Wadada, Kizito Keziron, Ismail Watenga, Halid Lwaliwa Tonny Mawejje, Timothy Awany, Joseph Ochaya, Muzamiru Mutyaba, Sadam Juma, Paul Mucureezi, Geoffrey Sserunkuuma, Derrick Nsibambi, Erisa Ssekisambu ne Yunus Sentamu be baakebereddwa sso ng’eggulo (Lwakutaano); Denis Guma, Murushid Juuko, Richard Kasagga, Rashid Toha, Godfrey Walusimbi, Martin Kiiza, Vitalis Tabu, Mohammed Shaban ne Edrisa Lubega lwe baakebereddwa.
Ku Mmande, Cranes lw’esuubirwa okuyingira enkambi kyokka Micho yalabudde abazannyi be nti tewaba yeetantala kulinnya mu kisaawe oba okukoona ku mupiira leero (Lwamukaaga) n’enkya ku Ssande.
Micho yagambye nti abazannyi bano balina okuwummula ennaku zino ebbiri nti kuba okutendekebwa kwe batandika ku Mmande kugenda kuba kwa njawulo.
Cranes yaakusitula okugenda e Gabon nga December 28 bazannye ogw’omukwano ne bannyinimu enkeera.
Cranes eggulawo empaka z’ebibinja mu z’Afrika ne Ghana nga January 17, ezzeeko Misiri nga January 21 esembyeyo Mali nga January 25.