TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Kirunda alaze Isinde bw'alina okukuumamu abateebi mu z'Afrika

Kirunda alaze Isinde bw'alina okukuumamu abateebi mu z'Afrika

Added 17th December 2016

JIMMY Kirunda ye yali muzibizi wa Cranes era nga ye yali kapiteeni wa ttiimu eyatuuka ku fayinolo y’eza Afrika mu 1978

 Kirunda ne Isinde

Kirunda ne Isinde

JIMMY Kirunda ye yali muzibizi wa Cranes era nga ye yali kapiteeni wa ttiimu eyatuuka ku fayinolo y’eza Afrika mu 1978. Silvano Kibuuka yamutuukiridde n’awa Isaac Isinde asuubira okuzannya ennamba (Kirunda) gye yazannyanga, engeri y’okwahhanga abateebi ba ttiimu ez’enjawulo nga batuuse e Gabon empaka zino gye zigenda okuzannyirwa.

Nnina essanyu okulaba ng’oluvannyuma lw’emyaka 39, Uganda nate yazzeeyo mu mpaka za Afria ze twakoma okugendamu mu 1978 ne tutuuka ku fayinolo.

We nazannyira omupiira, nnalina amannya amapaatiike okuli; ‘Berlin Wall’, ‘Sekanolya’ era oluusi abawagizi bandaajanira nti, “Kirunda tuzaale” naddala mu ddakiika ezisembayo nga ggoolo zigaanyi. Wadde ng’omupiira nagutandika ng’omuteebi, nafuuka omuzibizi ku ttiimu y’essomero Old Kampala SS omu ku bazibizi bwe yalwala omusomesa n’andagira nzannye ennamba ye olw’obuwanvu bwange nti ntomere emipiira.

Gano ge magezi ge yamuwadde; Isinde bw’atuuka mu kisaawe ebya sisitiimu omutendesi by’awa tasaana kubyesibako kubanga biyinza okutuuka ekiseera nga tebikyabakolera.

Ekisinga obukulu kwe kukwatagana ne basambi banne naddala nga waliwo abaduumira kubanga kapiteeni bw’aba asamba mu maaso mu kisenge mulina okubeeramu omuduumizi.

Isinde ateekwa okulaba nga munne (Murushid Juuko) bwe banaazannya bw’adda oludda olumu nga ye azibira ekifo kye amangu.

Mu ddakiika ettaano, Isinde ne munne bwe banaazannya bateekwa okuba nga bamaze okusoma entambula y’abateebi be bazibira n’okulaba asinga okubeera ow’omutawaana era abazibizi bombi balina okumwetegekera. Ekisenge ekirimu abazibizi abatayogerezeganya kibeera kifu era kimira ggoolo nnyingi.

Isinde ateekwa okuwuliziganya ne bazibizi banne n’okumanya obunafu bwabwe bayambagane. Sisuubira kisenge kya Cranes kunyooma muzannyi yenna kubanga okunyoomereza kuviiirako ttiimu okukola obubi ne ziteebwa.

Nasamba mu za Afrika enfunda ssatu (1974, 1976 ne 1978) era kye mmanyi kiri nti omuzibizi tasaanye kwesiba mu kisenge ng’alina omukisa ogukulukuta n’omupiira okugenda okuteeba.

Nze naliko omuteebi asinze mu liigi ng’ate ndi muzibizi. Wabula singa Isinde oba omuzibizi wa Cranes yenna afissaawo akadde okulumba, ateekwa okulaba nga waliwo abamuyambyeko mu nnamba ye era boogerezeganye sso si kumulinda yeerowooze.

Kitegeeza nti Cranes eteekeddwa okusambira awamu buli kaseera ate ng’abasambi boogeraganya buli omu n’amanya ekiddirira nga munne akutte omupiira. Isinde alina okussa omutima ogwekkiririzaamu mu bazibizi banne kubanga y’abasinga obumanyirivu ku Cranes.

Isinde yeegomba muzibizi ki mu nsi yonna? Nze ekitone kyange nakitumbulira ku Mugirimaani Franz Beckenbauer engeri gye yali akolamu okutangiramu omulabe n’okuggyawo omupiira.

Mu Uganda nnali nneegomba Ibrahim Dafala ‘British’. Cranes eri mu kibinja E ne Ghana, Misiri ne Mali ng’eggulawo ne Ghana nga January 17, 2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...