TOP

Omwaka ogujja njagala engule 2 - Ssebuguzi

Added 27th December 2016

RONALD Ssebuguzi, olwawangudde engule y'emmotoka z'empaka ez'akafubutuko ey'omwaka guno, n’awera nga bw’agenda okufiira ku muntu omwaka ogujja, ku eno agatteko n'eya NRC.

 Ronald Ssebuguzi

Ronald Ssebuguzi

Obubonero bw’engule y’ez’akafubutuko

1. Ronald Ssebuguzi 71.3

2. Duncan Mubiru 53.8

3. Hassan Alwi 46.8

4. Jas Mangat 46

RONALD Ssebuguzi, olwawangudde engule y'emmotoka z'empaka ez'akafubutuko ey'omwaka guno, n’awera nga bw’agenda okufiira ku muntu omwaka ogujja, ku eno agatteko n'eya NRC.

Ssebuguzi, okusitukira mu ngule eno, yasoose kumalira mu kifo kyakusatu mu mpaka za SMC Sprint Championship ezaabadde ku Festino Cite e Mukono ku Mmande kyokka ng'obubonero bw'akung'aanyizza omwaka gwonna, bumuwa obuwanguzi bw'engule “Kati ntunuulidde kutandika mwaka gujja na maanyi nnwaanire engule ya NRC eyampise mu ngalo mu guno ate ng'era n'ey'akafubutuko nayo njaagala,” Ssebuguzi bwe yategeezezza.

Duncan Mubiru ‘Kikankane’, ye yawangudde empaka za SMC Sprint Championship ze yavugidde eddakiika 06:42:06, yaddiriddwa Hassan Alwi mu kyokubiri ne Ssebuguzi mu kyokusatu.

Kalenda y'omwaka ogujja etandika nga January 26 n’empaka z’e Mbarara.

ABANENE OMWAKA BAGUWULIDDEMU

Ssebuguzi yatandika omwaka ng'abalirwa ku bagenda okutwala engule ya NRC wabula oluvannyuma lw'okukola obulungi mu mpaka ebbiri ezaggulawo kalenda, ennya ezaddako teyazimalaako nga mu zino mwe mwali n'ekigwo kye yafuna mu zaali e Fort Portal.

Kyokka si ye yekka omwaka gwe gutambulidde obubi mu bavuzi ba mmotoka z'empaka ab'amaanyi kuba n'abalala omuli; Arthur Blick eyawangula engule ya 2015, omwaka guno ekifo ekirungi ky'akuttemu, kyakubiri (za mu Pearl).

Kuku Ranjit, omwaka guno amazeeko empaka za mulundi gumu kw'ezo ettaano z'avuze. Duncan Mubiru eyayingizaawo emmotoka empya yamalako empaka za mulundi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...