TOP

Kafulu wa Table Tennis ali ku bugenyi mu Uganda

Added 30th December 2016

Omuzannyi wa Table Tennis (ttena ey’oku mmeeza) ali ku ddaala ly’ensi yonna, Segun Toriola okuva mu Nigeria ali mu Uganda ng’aleese obuyambi bw'ebikozesebwa mu muzannyo guno.

 Segun Toriola okuva mu Nigeria ng'akwasa Mary Musoke nga ye kalabaalabala wa Nakasero Table Tennis Clum ebikozesebwa. (ekif: Silvano Kibuuka)

Segun Toriola okuva mu Nigeria ng'akwasa Mary Musoke nga ye kalabaalabala wa Nakasero Table Tennis Clum ebikozesebwa. (ekif: Silvano Kibuuka)

Omuzannyi wa Table Tennis (ttena ey’oku mmeeza) ali ku ddaala ly’ensi yonna Segun Toriola okuva mu Nigeria ali mu Uganda ng’aleese obuyambi mu bikozesebwa mu muzannyo guno.

Ebikozesebwa bino mulumu obuwujjo obukuba akapiira kano, obupiira wamu n’obutimba obw’oku mmeeza okuzannyirwa ttena eno ng’abikwasizza Mary Musoke naye nga yaakakiikirira Uganda mu Olympics za nfunda ssatu.

Sogun nga yaakeetaba mu mizannyo gya Olympics enfunda musanvu, ssaako Common wealth Games era ye kyampiyooni wa Africa ku kazannyo kano kati emyaka 20.

Akwasizza abazannyi ba Nakasero Table Tennis Club ebikozesebwa bino ebivudde mu kitongole kya Ping San Frontiers okuva mu ggwanga lya Bufaransa gy’azannyira ttena ow’ensimbi mu kiraabu ya Baryard Argenton era n’awa bamusaayimuto obukodyo mu muzannyo guno.

Asomesezza abaana ba Nakasero TT Club obukodyo b’okuzannya ttena eno n’ategeeza nti ayagala kuddamu kukiika mu Olympics za 2020 mu Japan era ng’agenda kutandika okuzeetegekera okusobola okuyitamu.

Okujja mu Uganda Segun yayitidde Kenya nayo gye yawadde obuyambi bwe bumu okuva mu Ping San Frontiers.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....