TOP

Enkambi ya Cranes eggumidde e Tunisia

Added 2nd January 2017

UGANDA Cranes yatuuse bulungi mu Tunisia okwetegekera omupiira ogw’omukwano ne bannyinimu ku Lwokusatu mu nteekateeka zaayo ez’okwenyweza ng’empaka za AFCON tezinnatandika.

 Aba Cranes nga bali e Tunisia gye batuuse eggulo nga beetegekera okuzannya ogw'okwegezamu ne bannyinimu ku Lwokusatu nga January 4.

Aba Cranes nga bali e Tunisia gye batuuse eggulo nga beetegekera okuzannya ogw'okwegezamu ne bannyinimu ku Lwokusatu nga January 4.

Lwakusatu January 4:

Tunisia – Uganda

UGANDA Cranes yatuuse bulungi mu Tunisia okwetegekera omupiira ogw’omukwano ne bannyinimu ku Lwokusatu mu nteekateeka zaayo ez’okwenyweza ng’empaka za AFCON tezinnatandika.

Cranes eyasimbudde okuva mu Uganda ku Lwokutano akawungeezi teyasobodde kutuuka Tunisia mu budde oluvannyuma lw’embeera y’obudde okusooka okugikwatira e Doha mu Qatar n'esubwa ennyonyi eyabadde ey’okugituusa ku Lwomukaaga.

Eggulo ku Ssande , ku ssaawa 8 ogw'emisana, ttiimu yatuuse mu kibuga Tunis ng’abazannyi bonna bali mu mbeera nnungi, era ne batendekebwa akawungeezi.

Cranes esuzibwa ku woteeri ya Ramada Plaza, eyeesudde kiromita 20 okuva ku kisaawe kya  El Menzah.

Empaka za AFCON zitandika Lwamukaaga lwa wiiki ejja nga January 14.

Uganda eri mu kibinja D ng'eggulawo ne Ghana nga January 17 mu Kibuga Port Gentil.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...