TOP

Cranes si ya muntu omu - Bidandi

Added 2nd January 2017

Ffe bwe twali e Ghana, okukola omukwano ku bazannyi kyatuyamba nnyo okumanya embeera zaabwe ne kye balowooza nga tetunnagenda mu mupiira.

 Bidandi

Bidandi

NGA Cranes yeetegekera okuzannya empaka z'Afrika ezigenda okubeera e Gabon, MOSES KIGONGO yatuukiridde Jaberi Bidandi Ssali eyali maneja waayo mu 1978 n'asibirira abakungu ne maneja wa ttiimu entanda eneeyamba Cranes ng'empaka zitandise.

Abakungu ba Cranes eddimu ddene nnyo eribalindiridde naddala nga balwana ttiimu okukola obulungi mu mpaka z'Afrika e Gabon era ng'ebintu bino tebalina ku bibuusa maaso;

Abazannyi bonna balina okutwaliba kyenkanyi ate ng'abaana be bazaala kubanga, omuzannyi w'omupiira bw'otamufaako bulungi, naye ayinza okulemesa enteekateeka zo.

Ffe bwe twali e Ghana, okukola omukwano ku bazannyi kyatuyamba nnyo okumanya embeera zaabwe ne kye balowooza nga tetunnagenda mu mupiira.

Kiraabu nazo zirina okukwatagaana n'abakungu bano okulaba nga ziyamba abazannyi bano emitima okubabeera awamu.

Kiraabu ezaaliwo mu biseera byaffe, zaatuyambanga okulabirira abazannyi baazo okugeza nga KCC yawanga abazannyi baayo ebyokulya.

Mu kino omuzannyi yabeeranga n'ebirowoozo bitono ku be yalese ewaka kubanga nabo baayambibwanga.

Engeri gye yafuukamu maneja wa Cranes:

Abasinga balowooza nti okufuuka maneja wa ttiimu olina kubeera na ssente nnyingi kyokka ssi bwe kyali ku mulembe gwaffe kubanga ffe twasinziiranga ku bwagazi n'omutima gw'oyo gwe twateekangamu obwesige.

Nze baasinzira ku bwagazi bwe nalina nga ndi mu KCC.

Saagendako mu ssomero lyonna okusoma obutendesi oba obwamaneja kyokka obwagazi bwe byemizannyo bwe bwanteeka mu bifo ebyo.

Nnatendeka KCC okuva mu kibinja ekisooka okutuuka mu Super era eno gye bandabira okuntwala ku Cranes.

Omupiira gwa leero gwawukanye nnyo ku gwaffe Wadde ng'ennaku zino sikyagoberera nnyo mupiira olw'ebiragiro by'abasawo, ebintu bingi ebikyuse bw'ogeraageranya n'ebyaffe.

Edda ebitongole ebitwala emizannyo nga NCS, FUFA ne Gavumenti byalinanga enkolagaana eya waggulu era nga buli ekikolebwa, kyakolebwanga lwa bulungi bwa ggwanga n'omuzannyo ekitaliiwo ennaku zino.

Bw'otunulira ekikula ky'abazannyi be tulina ensangi zino nabo baawukanira ddala ku ba luli.

Kituufu Jimmy Kirunda yali omu era ne bw'aba yazaala tasobola kwezaala, wabula waakiri wabeerayo amusemberera mu kikula.

Abazannyi be twalina omwali; Jimmy Kirunda, Abbey Nasur, Tom Lwanga, Polly Ouma n’abalala toyinza kubageraageranya ku baliwo kati.

Baalina obumu n'omutima ogwagala ttiimu ekizibu okusangika mu b'ennaku zino kubanga mpulira ebiseera ebisinga nga bakulembeza ssente okusinga omupiira.

Kino kikulaga n'obwenkanya obwalingawo mu baddukanya ttiimu kubanga omuntu obutakulembeza ssente kitegeeza yazifuna nga mu budde.

Ekirala n'abawagizi nabo bakyuse nnyo simanyi oba mbeera ya byanfuna. Mu mirembe gyaffe ttiimu yabeeranga yabuli omu era ng'omuwagizi wa ddembe okujja n'ebikajjo n'abiwa abazannyi mu nkambi oba okuleeta ekintu kyonna ekibayamba kyokka ennaku zino tebiriiwo.

Bidandi Ssali y'ani?

Yazaalibwa Bumaali Kakonge Matembe ne Nnaalongo Eriosi Bulyaba e Butambala mu 1937. Yaliko omutendesi era maneja wa KCC ne Cranes mu mwaka gy'e 70.

Yasomerako ku Kibuli Junior gye yava okugenda e Nyakasura gye yamalira S6. Yakuguka mu byabulimi mu yunivasite y'e Pakistan. Alina diguli mu byobukulembeze n'ekikula ky'abantu gye yafunira e Nkozi ku Uganda Martyrs.

Musajja mufumbo eri Suzana Kiganda Nampinga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...