
EDWARD Golola, abadde atendeka Vipers ento, azzeeyo mu Vipers enkulu okuyamba ku Richard Wasswa, bwe baawangula liigi mu 2010.
Sizoni ewedde, nnannyini Vipers, Lawrence Mulindwa yaggya Golola ku butendesi bwa Vipers, n’abuwa George Nsimbe ng’agamba nti omutindo gwa Golola gwali gubulamu.
Kyokka eggulo, Golola yalabiseeko mu kutendekebwa kwa ttiimu eno e Kisubi ng’ayamba ku Wasswa .
Akulira ebyekikugu mu Vipers, Harunah Kyobe yategeezezza nti olw’okuba Golola ye mutendesi wa ttiimu y’essomero ne ttiimu yaabwe ento, tekimugaana kuyamba ku Wasswa kuba n’omusomo gw’ebbaluwa ya CAF B eyali emulemesa okutendeka ttiimu ya ‘Super’ yagumaze.
Golola ng’akyali mutendesi wa Vipers omukulu, yagiwangulira ebikopo bya liigi bibiri (mu 2015 ne 2010)