
Martin Bunjo owa Express (wansi) ng'alemesa Martin Kiiza owa Villa omupiira.
Kino kiddiridde Kiboga okuwandula Villa mu kikopo kino bwe yagikubye ku peneti 5-4 oluvannyuma lw’eddakiika 90 okuggwa (0-0).
Ebbaluwa eyatwaliddwa mu FUFA yateereddwaako omukono gw’atwala emirimu mu Villa, Ivan Kakembo, era nga yategeezezza nti Kiboga yazannyisizza Brian Mugume atali muzannyi waayo.
Mu bbaluwa eno, Kakembo yategeezezza nga Villa bwe yali yawandiisa Mugume, ng’omuzannyi waayo wabula n'ababulako okutuusa bwe bamwekangidde mu ttiimu ya Kiboga ng'azannya.
Felix Kawooya Ssekabuzza, atendeka Kiboga yagambye nti abakungu ba Villa bagezaako kwekwata ku bisubi kubanga omuzannyi gwe boogerako tafunanga ku layisinsi mu ttiimu yonna.
“Naakatambula ne Mugume kumpi mu ttiimu z'Amasaza ssatu era talina wadde ttiimu gye yali akoze nayo endagaano.
Kijja kitya ate aba Villa okumwesibako, bw'aba waabwe bulijjo bali ludda wa?” Kawooya bwe yeebuuzizza.
Omwaka oguwedde, Villa yaggyibwamu Onduparaka mu kikopo kino ku luzannya lwa ttiimu 32.